
Bya EDWARD LUYIMBAAZI
OMULAMUZI wa kkooti enkulu e Nakawa, Flavia Nassuuna ayisizza ekiwandiiko ekiragira Kasim Kakaire eyayokya mukazi we asidi okuleetebwa mu kkooti bunnambiro.
Kino kiddiridde omuwaabi wa Gavumenti, Doreen Erima okutegeeza nti omwami ono kati emirundi esatu nga kkooti emuyita naye nga taleetebwa.
Wabula banne ba Kakaire bwe bavunaanibwa okuyira Justine Namanda okuli Ivan Namanya ne Farouk Walusimbi bo baabadde baleeteddwa mu kkooti naye musango ne gwongezebwaayo kuba ye taleeteddwa.
Okusinziira ku muganda wa Namanda, amanyiddwa nga Maama Derrick, Kakaire ali mu ddwaaliro e Mulago naye olunaku olw’okumuleeta mu kkooti bwe lutuuka nga yeefuula omulwadde ennyo. Guddamu nga February 18.
Kkooti eragidde Kakaire eyayiira mukazi we asidi okuleetebwa mu kkooti