TOP

Aleppuka na gwa kuyiira bba asidi

Added 11th February 2015

OMUKAZI asimbiddwa mu kkooti n’avunaanibwa okuyiira bba asidi. Janat Nalubwama ow’e Kitende mu Wakiso baamulumirizza okwekobaana n’omukuumi w’awaka, Hakim Matovu ne bayiira bba, Nasser Mubonde asidi n’ekigendererwa ky’okumutta yeddize ebyobugagga bya bba.

 Bya Maurice Kulabako

OMUKAZI asimbiddwa mu kkooti n’avunaanibwa okuyiira bba asidi. Janat Nalubwama ow’e Kitende mu Wakiso baamulumirizza okwekobaana n’omukuumi w’awaka, Hakim Matovu ne bayiira bba, Nasser Mubonde asidi n’ekigendererwa ky’okumutta yeddize ebyobugagga bya bba.

Baabadde mu maaso g’omulamuzi Suzan Abinyo mukkooti y’e Ntebe mwe baategeerezza nti Mabonde asidi baamumuyiira nga August 21, 2014 ku ssaawa 4.00 ez’ekiro bwe yali ava okukola.

Kigambibwa nti bulijjo Nalubwama ng’asula waka ne bba naye ku olwo bba lwe baamuyira asidi teyalabikako nga ne mu ddwaaliro yatuuka nkeera ate nga baamukubiranga essimu nga bba afunye obuzibu nga takwata ekyongera okulaga nti yali alina ky’amanyi ku byali biguddewo.

Mubonde yalumirizza nti kituufu Nalubwama yali ayagala kumutta yeddize ebyobugagga. Mubonde agamba nti yali yakwatako ku Nalubwama n’omusajja omulala mu buliri bwe.

Omulamuzi Abinyo yalagidde omusango okuddamu okuwulirwa nga February 25.

Aleppuka na gwa kuyiira bba asidi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bushira ng’akyali ne Dr. Ssebunnya. Ku ddyo, Kamya yasibye Bushira empeta ya nkusibiddaawo.

Bba wa Rema gwe yaleka afun...

OMUWALA Dr. Hamza Ssebunnya bba w’omuyimbi Rema Namakula gwe yalekawo ayanjudde omusajja omulala ne bamusoomooza...

Daddy Andre eyayanjuddwa Nina Rose. Ku ddyo ye muyimbi Katatumba

Angella Katatumba ali mu ki...

OMUYIMBI Angella Katatumba ali mu kiyongobero olwa muyimbi munne Nina Rose okutwala muninkini we, Daddy Andre n’amwanjula...

Abaserikale nga bakunya omusajja eyabadde n'emmundu.

Bamukutte n'emmundu mu luki...

POLIISI ekutte omusajja eyabadde n’abawagizi ba Joe Biden n’emmundu ejjudde amasasi okumpi n’olukuggaana lwa Pulezidenti...

Dokita ng'agema omwana polio.

Polio taggwangayo - Dokita

GAVUMENTI erabudde Bannayuganda ku bulwadde bwa polio ne balagirwa obutabugayaalirira bayongere okutwala abaana...

Ababbi kkamera be yakutte nga banyaga edduuka e Bunnamwaya.

Kkamera zikutte ababbi nga ...

ABABBI balumbye edduuka ly’ebizimbisibwa e Bunnamwaya ne banyaga ebintu nga tebamanyi nti kkamera ezaabadde munda...