TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukazi omulala abbye bbebi ku nnakawere e Mulago: Bamukwatidde Kyengere

Omukazi omulala abbye bbebi ku nnakawere e Mulago: Bamukwatidde Kyengere

Added 12th February 2015

OMUKAZI asooberedde nnakawere e Mulago n’amubbako bbebi gw’abadde yaakazaala n’amutwalira omusajja gw’aludde ng’alimba olubuto.

 Bya SHAMIRAH NABIDDO

OMUKAZI asooberedde nnakawere e Mulago n’amubbako bbebi gw’abadde yaakazaala n’amutwalira omusajja gw’aludde ng’alimba olubuto.

Jackie Nalubwama ye yakwatiddwa poliisi nga yeekwese ewa nnyina e Kyengera. Eyabbiddwaako omwana ye Aisha Nabateregga omutuuze w’e Mulago.

Nalubwama yapangisizza sipensuloeyamuggye e Mulago okumutwala e Busega we yavudde okweyongerayo e Kyengera ewa nnyina gye baamukwatidde.

Okumukwata, kyaddiridde omuvuzi wa sipensulo okuwulira Nalubwama ng’akubira bba essimu nga bwe yabadde azadde omwana.

Owa sipensulo yeekengedde Nalubwama gw’agamba nti yamutunuulidde nga talina kintu kyonna kiraga nti yabadde nnakawere era kino kyamuwalirizza okudda e Mulago ku poliisi n’atemya ku baserikale.

Owa sipensulo bwe yatuuse ku poliisi, yasanzeewo omukazi akaaba ng’agamba nti bamubbyeeko omwana we era mu bwangu abaserikale baasitukiddemu ddereeva ono n’abatwala we yatutte omukazi e Busega. Tebaamusanzeewo wabula gwe baasanzeewo yabategeezezza nti ‘nnakawere’ agenze wa nnyina e Kyengera.

Okusooka, omuwala ono mu kukubira bba essimu, yeegayirira owa sipensulo n’akozesa essimu ye okukubira bba era poliisi kwe kuggyamu ennamba n’ekubira bba (eyategeerekeseeko erya Steven), gwe baakwatidde mu kibuga ne bamulagira abatuuse ku mukyala we.

Nalubwama yannyonnyodde nti yafuna obuzibu bwe yategeeza bba nti alina olubuto wabula ebyembi ne luvaamu n’atya okukigamba  bba.

Yasalawo afune omwana awantu nga yasooka kugenda ku Sanyu Baby’s Home n’abayitiramu kyokka ne bamugamba nti baali basobola kumufunira mwana wa myezi esatu.

Eno ddiiru yagaana kwe kutuukirira mukwano gwe eyamuwa amagezi nti e Mulago yali asobola okufunayo omwana kuba obukuumi bwayo tebumala.

Okusooka baagendayo okuketta oluvannyuma Nalubwama n’addayo n’alabiriza nnakawere ono nga yaakazaala n’asitulawo omwana n’abulawo naye.

Akulira poliisi y’e Mulago, Hashim Kasinga yeebazizza omuvuzi wa sipensulo nti yakoze kinene okubasobozesa okukwata omukazi ono.

Omwogezi w’eddwaaliro ly’e Mulago, Enock Kusasira yagambye nti mu ddwaaliro kati bassaamu kkamera eziketta abamenyi b’amateeka era ne yeebaza poliisi okukozesa obwangu okuzuula omwana ono ng’akyali mu mbeera nnungi.

Omukazi omulala abbye bbebi ku nnakawere e Mulago: Bamukwatidde Kyengere

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Joel Kakembo akunz...

Omusumba Joel Kakembo owa Mt. Zion Church Gayaza era akulira Upper Room Pastors Network, akubirizza abasumba okwetaba...

Abatuuze mu lukiiko.

Nnamukadde yeekubidde enduu...

Nnamukadde Teddy Nakirijja 75, nnamwandu w'omugenzi Disan Mukasa yeekubidde enduulu mu ofiisi y'omukulembeze w'eggwanga...

Omubaka Kabanda ng'ayogera eri abaddusi.

'Muwagire nnyo enteekateeka...

OMUBAKA omukyala owa Masaka mu Paalamenti, Mary Babirye Kabanda emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka agisimbudde n'abaddusi...

Amuriat (owookusatu ku ddyo) ne banne nga batudde mu luguudo wakati.

Wano nvaawo na guleeda - Am...

Wabaddewo akanyoolagano wakati w'akwatidde FDC  bendera okuvuganya ku bwapulezidenti, Patrick Oboi Amuriat ne Poliisi....

Ssaabasumba ng'akwasa Omukristu Bayibuli. (Ebif. Ponsiano Nsimbi)

Abavubuka mukomye okukola e...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga alabudde abavubuka  okukomya okukola effujjo....