TOP

Baganda ba Bobi bakaayanidde ebyobusika

Added 13th February 2015

OMULAMBO gwa taata wa Bobi Wine gwatambuziddwa mu makaage abiri oluvannyuma ne gulyoka guziikibwa. Kino kyakoleddwa olw’enkaayana ez’amaanyi ng’abaana beetemyemu ebibinja bibiri ng’entabwe eva ani ateekeddwa okusikira Muzeeyi Willington Jackson Ssentamu.

Bya JOSEPHAT SSEGUYA  NE PADDY BUKENYA

OMULAMBO gwa taata wa Bobi Wine gwatambuziddwa mu makaage abiri oluvannyuma ne gulyoka guziikibwa. Kino kyakoleddwa olw’enkaayana ez’amaanyi ng’abaana beetemyemu ebibinja bibiri ng’entabwe eva ani ateekeddwa okusikira Muzeeyi Willington Jackson Ssentamu.

Omulambo bwe gwatuusiddwa e Kanoni mu Gomba mu maka g’omukyala ow’empeta Mary Mangadalena Namale, okusika omuguwa kwatandikiddewo era ne kisalwawo omulambo gumalewo essaawa ntono, bagutwale ew’omukyala nnamba ssatu Alice Nantumbwe ku kyalo Wasinda ekiriranyeewo era wano we wali n’ekiggya we baamuziise.

Mu lukiiko olwasooseewo e Kanoni, eky’okutwalako omulambo mu maka mwe baazaalira Bobi Wine (Robert Kyagulanyi Ssentamu) ne banne okuli Eddie Yawe, baakisimbidde ekkuuli nga bagamba nti tewakyaliwo mukyala agabeeramu kubanga nnyaabwe Margaret Nalunkuuma yafa ate nga n’ennyumba mu kiseera kino ekozesebwa nga galagi mwe basuza mmotoka.

ENKAAYANA KU BUSIKA

Nga batuuse e Wasinda, enkiiko z’abaana n’abooluganda zaatandise okutuula akawungeezi k’Olwokusatu.

Baasoose kubuuza oba waliwo omuntu yenna Muzeeyi Ssentamu gwe yalekedde ekiraamo kyokka ne wabulawo eyeesowolayo. Abooluganda abamu baategeezezza nti Ssentamu yabategeeza nti yakola ekiraamo wabula teyabategeeza gwe yakiwa era balina essuubi nti waakuvaayo akibaleetere.

Abooluganda abamu baategeezezza nti Ssentamu yabakalaatira nti bw’afa, omwana omuto ow’omukyala nnamba ssatu (Alice Nantumbwe) y’alina okumusikira. 

.........................................................................................................................................

Ebirala ku Mzee Ssentamu....

..........................................................................................................................................

Kino abamu baakiwakanyizza nga bagamba nti tebayinza kukkiriza mwana muto kulya busika ng’ate Ssentamu alese abaana abakulu. Ekiwayi kino kyabadde kisemba omulenzi Joseph Kasibante omusuubuzi w’amafuta e Kanoni y’aba atwala obusika.

Abalala baabadde basemba Fred Nyanzi y’aba atwala obusika kyokka ekiwayi eky’abaana ab’omukyalo ne kimusimbira ekkuuli nga kigamba nti asinga kwekubiira ku baana abali mu Kampala. 

Ensonda mu lukiiko zaategeezezza nti ab’oludda lw’abaana ab’e Kampala awo we baaleetedde erinnya lya Julius Walakira kyokka Bukedde bwe yamutuukiridde oluvannyuma yategeezezza nti eby’obusika tabiriimu kubanga ye Ssaalongo ate nga mu buwangwa bwa Buganda, Ssaalongo tasika. Ku myaka 80, Muzeeyi Ssentamu yalese abaana abasukka 35 era enkalu zaavudde ku kya buli mwana okwagala omusika ave mu baana bwe bagatta maama. 

Mu 2012 Bukedde yayogera ne Ssentamu n’atutegeeza nti teyeekakasa muwendo gwa baana b’alina kyokka amanyi nti basukka mu 40 era abakazi abaleeta abaana bakyesomba nga mu b’azze mulimu n’eyaleese omwana ow’emyaka 4 gyokka!

Abamu ku baana abaakulembeddwa Bobi Wine bakira bakubirira bannaabwe baleme kweyuzaayuza n’okubakubiriza okwewala okwetemamu, nga bagamba nti kino tekirina gwe kitwala mu maaso.

Ku nkomerero baasazeewo ensonga y’obusika bagizze ebbali beemalire ku by’okuziika omugenzi mu kitiibwa nga bwe bawaayo akadde okuzuula oba waliwo alina ekiraamo. Baasoose kulya mmere olwo okuziika ne kulyoka kutandika.

Baganda ba Bobi bakaayanidde ebyobusika

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu