TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Embeera mu ddwaaliro e Mulago eriddaabirizibwa yeeraliikirizza abalwadde

Embeera mu ddwaaliro e Mulago eriddaabirizibwa yeeraliikirizza abalwadde

Added 15th February 2015

MU October w’ omwaka oguwedde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yatongoza okuddaabiriza amalwaliro ga gavumenti omuli ne Mulago era nga kaweefube ono waakutwala emyaka ebiri.

Bya HAFSWA NANKANJA

MU October w’ omwaka oguwedde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yatongoza okuddaabiriza amalwaliro ga gavumenti omuli ne Mulago era nga kaweefube ono waakutwala emyaka ebiri.

Ebyembi, mu myezi esatu gyokka gye twakasenvulako, Bannayuganda naddala abettanira ennyo eddwaaliro lino, batandikiddewo okwekokkola kaweefube ono olw’ebizibu bye basanze.

Robinah Kiyingi ow’e Masuuliita ne Mark Kasirye ow’e Mulago bagamba nti enkulaakulana bw’eba ezze, nnungi kyokka abagireeta bateekeddwa okusooka okweteekateeka obulungi.

Baatugamba okuddaabiriza Mulago kwa myaka ebiri gyokka kyokka ne we tuli kati tolabawo kyakyuseeko okuggyako okuzunza abantu n’abalwadde baabwe.

Twaleeta wano omulwadde waffe nga waakulongoosa kyenda kyokka mu lunaku lumu lwokka ne bamusiibulirawo nga n’essaawa ze bamugambye okumala nga yeevuunise tezinnaggwaako.
Ekirala, ffe abajjanjabi twagobeddwa mu woodi era kati tuzungira bweru mu luggya mu kasana akayitirivu. Weebuuze nti singa enkuba etonnyera wano, banaatu¬kuumira wa fenna nga bw’otulaba wano n’abalala abali mu mpya ez’enjawulo?

Obucaafu bususse e Mulago, abajjanjabi tebalina kaabuyonjo wadde akayigo we bagendako ok¬weyamba. Akayigo kaasigala kamu kokka ate nga kali munda mu waadi gye batabakkiriza kuyingira buli kiseera”.

EDDWAALIRO KYE LIGAMBA

Omwogezi w’eddwaaliro lino, Enock Kusasira agamba: “Enteeka¬teeka z’okuddaabiriza eddwaaliro ly’e Mulago zigenda mu maaso nga bwe zaateekebwateekebwa. Twakirambika bulungi ne tutegee¬za abantu nga tuyita mu mikutu gy’amawulire egy’enjawulo nti tugenda kutandikira ku busenge G ne A era bye biri mu kukolebwako essaawa eno.

Ekirala, abantu twabategeeza nti geeti bulijjo gye beeyambisa okuy¬ingira mu ddwaaliro egenda kuggalwa nga bateekeddwa okukozesa geeti eyingira mu ggwanika.

Nkubiriza Bannayuganda nti mu kaseera kano beeyambise ku malwaliro ga KCCA agabali okumpi okugeza, ery’e Kiswa, Kawaala, ne Naggulu olw’okwewala okutaataaganyizibwa.

Abantu kyabalema okukwata nti Mulago ddwaaliro erikola ku ndwadde eziba ziremeredde aba¬sawo mu malwaliro ago olwo ne bakutusindikira.
Weesanga nga n’alumizibwa omutwe naye azze Mulago ssaako n’owa ssennyiga ekigendererwa ky’eddwaaliro lino ne kikubula.

Tugenda kufuba okulaba nga buli mwezi tutegeeza abantu okud¬daabiriza kuno we kutuuse nga tuyita mu mawulire ag’enjawulo”.

 

Embeera mu ddwaaliro e Mulago eriddaabirizibwa yeeraliikirizza abalwadde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...