TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abavubuka bawambye omuwala ne bamusobyako kirindi

Abavubuka bawambye omuwala ne bamusobyako kirindi

Added 4th March 2015

BAJJIDDE mu mmotoka bbiri: Premeo ne Mark II nnamba UAL 241G enkola empya ne zijja nga zigobagana mpolampola, omuwala n’aziviira ng’atta ku bigere, kyokka esooka olwamuyiseeko n’eyimirira ate ey’okubiri nayo n’ekola bw’etyo, mweno mwe mwavudde omusajja eyamusise n’amusindika mu mmotoka zombi ne zis

Bya Luke Kagiri

BAJJIDDE mu mmotoka bbiri: Premeo ne Mark II nnamba UAL 241G enkola empya ne zijja nga zigobagana mpolampola, omuwala n’aziviira ng’atta ku bigere, kyokka esooka olwamuyiseeko n’eyimirira ate ey’okubiri nayo n’ekola bw’etyo, mweno mwe mwavudde omusajja eyamusise n’amusindika mu mmotoka zombi ne zisimbula ne zigenda.

Zaasibidde mu nnyumba ey’ekikomera ebadde epangisibwa abavubuka basatu ne batandikirawo okumusobyako mu mpalo nga kwe batadde okuleekaanya leediyo, okulemesa baliraanwa okuwulira okulaajana kw’omuwala ono ow’emyaka 17.

Oluvannyuma lw’ennaku bbiri nga bamaze okwemala eggoga, baakubye pulaani y’okumusaddaaka era ne batuma owa bodaboda ejjambiya, emiguwa, ebbaafu n’akadeeya ak’okusibamu omulambo nga bamaze okuguggyamu omusaayi.

Bino byabadde Kasenyi mu kibuga ky’e Mubende ku Lwokuna. Abasajja;  Brian Matovu, Taddeo Safari ne James Natama  abagambibwa okuva e Kampala era nga babadde bapangisa ennyumba ez’ebbeeyi mwe babadde basinziira okukolera emirimu gyabwe be beenyigidde mu bino. Abantu abamu baategeezezza nti abantu babadde babayita basawo ba kinnansi ate abalala nga babayita basuubuzi kyokka nga bye basuubula teri abimanyi.

 Abatuuze ababeera okumpi n’ekikomera kino bagamba nti olumu babadde bawulira omuwala alaajana  kyokka ate ne babuzibwabuzibwa leediyo ereekana ate nga nabo batya okuyingira mu kikomera okutegeerera ddala ekigenda mu maaso. 

Bagamba nti oluvannyuma emisana, baalabye omwana ono ng’afuluma geeti ng’adduka  kyokka ng’alabika munafu nnyo era wano we baamuyambidde  okugenda ku poliisi. Baasigadde balimisa abasajja bano  baleme kudduka okutuusa poliisi lwe yazze n’ebakwata.

Ku baakwatiddwa, Brian Matovu y’abadde yeeyita omusawo omukulu ng’ate  Taddeo Safari ne James Natama nti be bakongozzi be.

OMUWALA ALOJJA

Ku ssaawa emu ey’oku  makya, abasajja baakiika emmotoka mu maaso gange olwo ne bansika ne banyingiza ng’abantu balaba naye ne sitaasibwa.

 Bantwala mu nnyumba yaabwe ng’omu agenda ankwatakwata era olwayingira ennyumba ne  batandika okunkozesa omu ku omu. Bannange kyrnguddeko si kitenda, agasajja katono ganzite era nzenna mpulira ng’ayidde omuliro oba gwe bayiiridde kaamulali, ndabika nnafunye n’obulwadde.

Mazze ennaku nga ndaanjana naye nga babeera bataddeko ebizindaalo ng’ebweru teri awulira.

 Ku ssaawa envannyuma, babadde bansibidde mu kisenge olwo nga nzenna nninga anaatera okufa era nga mbalaga nti sikyategeera, kyokka nga mpulira bye boogera.  Baateesa nti baleete ejjambiya n’emiguwa, ebbaafu  n’akakutiya bansaddaake ng’omusaayi bagulembese.

 Baakubidde bodaboda eyaleese bye baatumizza ne bansiba.  Ebyembi, omu eyalabise ng’akyayagala okunneeyambisa n’abagamba basooke balindeko okunsiba kyokka yabadde yaakansumulula ate banne ne bamuyita mu kisenge ekirala era wano we natolokedde n’empita mu ddiiro ne njolekera geeti okutuusa abazirakisa we bannyambidde.

Abavubuka bawambye omuwala ne bamusobyako kirindi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'Drone' etomedde akatimba k...

Abantu abawerako balumiziddwa takisi ekika kya Drone nnamba UBJ 598 P ebadde eva e Mutukula - Kyotera okwolekera...

Ggoolokipa Lukwago agudde m...

GGOOLOKIPA wa KCCA FC ne Uganda Cranes, Charles Lukwago agudde mu bintu bw’afunye kkampuni egenda okumwambazanga...

Mabirizi addukidde mu kkoot...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi addukidde mu kkooti enkulu mu musango gw'avunaana Ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo n'agisaba...

Abatuuze batabukidde omuser...

Abatuuze ku byalo bina okuli; Kigando, Kirumba, Sozi ne Bukaana mu ggombolola y'e Mijwala e Sembabule bali mu kutya...

Fr. Tamale aziikiddwa wakat...

AKASEERA kakwennyamira mu bannaddiini n'abakungubazi abeetabye mu kitambiro kya mmisa ekulembedde omukolo gw'okuziika...