TOP

Munnayunda nkubakyeyo bamuttidde e South Afrika

Added 11th March 2015

MUNNAYUGANDA bamutaayirizza e South Africa ku makya ng’agenda okukola ne bamufumita ebiso ne bamuyuza ekifuba n’okumuyiwa ebyenda n’afiirawo.

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA

MUNNAYUGANDA bamutaayirizza e South Africa ku makya ng’agenda okukola ne bamufumita ebiso ne bamuyuza ekifuba n’okumuyiwa ebyenda n’afiirawo.

Richard Senyange, 30, Munnayuganda abadde ku kyeyo e South Africa, yakedde n’atambula ne munne ku Lwokubiri eggulo nga busaasaana bagende ku mulimu. Wano we baagwiridde mu basajja abaabalagidde okuyimirira munne bwe yabeekengedde n’adduka olwo Senyange ne bamutaayiza.

Okusinziira ku Fred Sennyonga, bwe baabadde, abasse Senyange baabadde Bannayuganda banne nga kigambibwa nti baakikoze lwa mpalana za mirimu. Sennyonga agamba nti baludde nga bamwewerera okumutusaako obulabe.

Baamuttidde mu katundu akayitibwa Wonderers era amanyiiko erinnya limu limu ery’abatemu okuli Kizito ne Victor. Victor baamukutte oluvannyuma bwe yabadde azingako ebintu bye okudduka ne bamukwasa poliisi ate Kizito yabadde akyanoonyezebwa.

Olumbe baalukumidde wa ssentebe wa Bannayuganda abali mu kitundu kino, Muhammed Sendagire nga bwe bakola ku nteetakeeka z’okuzza omulambo kyokka Robert Lubega Senninde (kkojja w’omugenzi) alaajanidde gavumenti ebataase ezze omulambo kubanga bo tebalina ssente zigukomyawo.

 

EBIKWATA KU MUGENZI:

Senninde, kkojja w’omugenzi Senyange, musuubuzi mu Kampala ku luguudo lwa Nabugabo. Yannyonnyodde nti ye yakuza Senyange era yasooka kugenda Iraq mu 2009 bwe yakomawo n’amala ekiseera kitono ate n’agenda e South Africa.

Oluvannyuma yakomawo n’anona mukyala we Getrude Namirimu naye n’amutwala. 

Omwaka oguwedde baakomawoko mu Uganda ate ne baddayo kyokka babadde bawuliziganya naye. Bwe bakomawo babadde bapangisa Makindye gye yabeeranga, nga ne kkojja we gy’abeera.

Senyange abadde n’omwana omuwala Noereen Nabukeera, 8, kyokka nga ye abeera mu Uganda. Senninde agamba nti omulambo gwa Senyange bwe gukomezebwawo, bagenda kumuziika Kyabazaala mu Bugerere.

 

Munnayunda nkubakyeyo bamuttidde e South Afrika

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...