
Bya Deborah Nanfuka
OMUZIGU ateeze omusuubuzi mu katale k'e Nateete mu makaage ng'anaaba n'amuyiira amazzi agookya agamubambudde olususu.
Esther Nakyanzi, 29, omutuuze mu Nanfuka zooni e Nateete agamba nti yakomyewo awaka ku ssaawa 2:00 ez'ekiro n'atwala amazzi mu kinaabiro, yabadde ky'aggye atandike okunaaba ne bamuyiira olweje.
Nakyanzi omusuubuzi w'ennyaanya mu katale k'e Nateete yannyonnyodde nti yakubye enduulu kyokka omutemu n'adduka ebbaafu mwe yaleetedde amazzi n'agirekawo era bamuliranwa be baamuyambye okumuddusa mu ddwaaliro e Mulago ng'afa obulumi.
Obulumbaganyi buno bwamutuusiddwaako ku Lwakubiri ku ssaawa 2:00 ez'ekiro.
Nakyanzi abadde yayawukana ne bba Richard Sebuufu mu 2010 nga kati (Sebuufu) mutuuze w'e Kulambiro era makanika wa mmotoka e Ntinda.
Ono yamuzaalamu abaana babiri omuwala (ow'emyaka 13) ate omulenzi wa myaka 9 nga bonna basomera mu kisulo.
Nakyanzi apooca mu ddwaaliro e Mulago n'ebisago ku mutwe n'emikono.
Omuzigu ateeze omukazi ng''anaaba n''amuyiira olweje