
Bya MARTIN NDIJJO
AK47 w’afiiridde ng’akoze ennyimba eziwerako ezigenda okusigala mu bantu okumujjukirirako. Kyokka bangi babadde bakoma ku kya kuwulira linnya lya AK47 nga n’abamu tebamannyi ono y’ani.
AK47 Y’ANI
Amannya amatuufu ye Emmanuel Hummertone Mayanja.
Ono ye mwana omuggalanda ow’omwami Gerald Mayanja n’omuky. Proscovia Mayanja (bazadde ba Chameleon).
Abadde omu ku bayimbi abato aboogerwako mu ggwanga olw’ekitone kye era ezimu ku ngule z’alese awangudde mwe muli n’eya ‘Buzz Teeniez Award’ mu 2012 (empaka z’abavubuka) ng’okusinga abadde ayimba kika kya myuziki ekya ‘dancehall’ ekinyumira ennyo abagenda mu bidongo.
Ng’oggyeeko okuyimba mu masomero gye yasomera, AK47 okuyimba okwa ssente yakutandikira mu kibiina kya mukulu we Jose Chameleone ekya Leone Island mu 2008 bwe yali yaakamaliriza S6 ku Kisubi High.
Ono yakozesa omukisa gwa Moze Radio ne Weasel (naye muganda w’omugenzi) abaali baakaabulira Chameleone n’amusaba amukkirize adde mu kifo ky’ababiri bano.
Oluyimba olwasooka okumutunda baluyita ‘Bayuda’ lwe yayimba ne Chameleon era abantu bangi oluyimba luno balwogerako (baalutaputa) nga Chameleon lwe yayimbira Moze ne Weasel abaali bamwabulidde ng’abayita bayudda.
Ng’omuv-ubuka omugezegezi, Ak47 yatandika okukozesa omukisa gw’okuyimba ne mukulu we omuyimbi ow’erinnya okwongera okwetunda n’okukul-aakulaanya ekitone kye. Mu 2011 yakola oluyimba ‘Champion’ omuli ekidongo ky’Abajamaica olwakwata ennyo abavubuka omubabiro n’okwongera okumutunda.
Yagezaako okwagala okwekutula ku mukulu we (Chameleone) bwe yakola ekibiina kye yatuuma ‘Bullet Proof Records’ kyokka ne kitakwatayo n’asalawo okusigala mu Leone Island.
AYABULIRA CHAMELEONE NE YEEYUBULA
Mu May wa 2014, AK47 yeegatta ku muyimbi King Saha (eyayimba Muliraanwa) ne Sam Mukasa eyali maneja w’ekibiina ne baabulira Chameleone nga bawa ensonga ez’enjawulo.
AK47 yeegatta ku kibiina kya Team No Sleep ekikulirwa Jeff Kiwanuka era eno abadde ku lugendo lwa kweyubula okuwa abantu ekifaananyi ekyenjawulo kwe balina okumumanyira okwawukanako ne bwe yali mu Leone Island. Yatandikira ku kya kukyusa linnya era kati abadde yeeyita AK ate olumu AK.AY. Kuno yagattako okusalako ebiraasi era nga takyakuza nviiri ne w’afiiridde ng’alina nnyimpi.
LWAKI YALI YEETUUMA AK47?
Maneja w’omuyimbi King Saha, Sam Mukasa agamba nti erinnya lino lyamuweebwa Chameleone ng’agamba nti lyali ligenda kumutunda mangu okusinga Hummertone lye yali akozesa nga yaakeegatta ku kibiina kye.
“We yatandikira okuyimba ng’ebigambo abiwandula nga mundu ewandula amasasi era wano Chameleone kwe kumuwa erya AK47 nti lijja na kumuyamba okumutunda amangu mu bantu. Ddala lyamuyamba okufaananako ne Chameleone ne baganda be abalala bwe beetuuma amannya agakanga,” Mukasa bwe yagambye.
Lwaki Emmanuel Hummertone Mayanja abadde yeetuuma AK47