TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannamityana balabuddwa okusibwa abataweerera baana

Bannamityana balabuddwa okusibwa abataweerera baana

Added 30th March 2015

Minisita w’ebyenjigiriza, Jessica Alupo alagidde poliisi n’abakulembeze ba disitulikiti y’e Mityana okutandika ebikwekweto okufuuza abaana abatasoma ne bazadde baabwe nabo bakwatibwe bavunaanibwe.

Bya Luke Kagiri ne kizito musoke


Minisita w’ebyenjigiriza, Jessica Alupo alagidde poliisi n’abakulembeze ba disitulikiti y’e Mityana okutandika ebikwekweto okufuuza abaana abatasoma ne bazadde baabwe nabo bakwatibwe bavunaanibwe.

Bino yabyogeredde ku ssomero lya Mityana SS erimanyiddwa nga Namukozi mu kibuga Mityana, bwe yabadde akiikiridde Pulezidenti Yoweri Museveni okutongoza ebizimbe galikwoleka eby’essomero lino.

Minisita yagambye nti kyennyamiza okulaba nga yadde Gavumenti etadde ensimbi mu byenjigiriza, waliwo abazadde abatafaayo kukozesa mukisa guno, olwo ensimbi eziteekeddwaamu ne zifiira bwereere.

Yanokoddeyo ebitundu nga eby’oku nnyanja n’ebiseera eby’obutale ng’eno abazadde gye batuma abaana mu biseera eby’okusoma.

Bino okubeerawo abakulembeze ba disitulikiti eno okwabadde Ssentebe wa LC 5, Deborah Kyazike Kinobe ne RDC, Joy Walusimbi baabadde baaloopedde minisita ng’abazadde mu Mityana bwe batafaayo kuweerera baana.

Kinobe yagambye nti abazadde abamu abaweerera abaana ate tebabawa byetaago bya ku masomero nga kye kimu ku bizing’amizza ebyenjigiriza.

EBIZIMBE BYA BUWUMBI
Minisita eyabadde awerekeddwaako munne omubeezi avunaanyizibwa ku ofiisi y’omumyuka wa Pulezidenti yatongozza ebizimbe ebibalirirwamu obuwumbi busatu.

Ebizimbe bino kuliko ebya kalina ebiriko ebibiina 12, awasomerwa amasomo ga Kompyuta n’awasomerwa amasomo ga ssaayansi. Minisita yagambye nti ebikozesebwa ebikyabula ku bizimbe bino mu April bigenda kuba biweerezeddwa e Mityana.

Yabasuubizza okwongera okunoonya ensimbi bongere okuddaabiriza ebizimbe ebirala ebiriwo ebikadde. Yasuubizza era okunoonya ensimbi mu Gavumenti ziyambe okutumbula amasomo g’ebyemikono, omuli obubazzi, okusiiga ebifaananyi n’obulimi.

Ate omumyuka wa pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi yagguddewo ebizimbe by’essomero erya Kiggwa Secondary awamu n’ennyumba z’abasawo ku ddwaaliro lya Kitongo Health Centre III ebisangibwa mu ggombolola y’e Butayunja e

Mityana ku Lwokutaano ku mukolo disitulikiti kwe yajagulizza olunaku lw’Ameenunula g’eggwanga.
Sekandi, yasiimye abantu b’e Mityana, olw’okuwagira NRM n’abakakasa nga bw’ejja okugenda mu maaso n’okubaweereza. Yasuubizza nga bw’agenda okufuba okulaba ng’essomero lya Kiggwa SSS lifuna etterekero ly’ebitabo ne Labaratory.

NAMASOMERO AMALALA  AGAZIMBIDDWA
Amasomero amalala agaazimbiddwa Gavumenti kuliko erya; St. Joseph Kakindu eriri mu ggombolola y’e Kakindu, Bujubi SSS, Kalangaalo SSS, Sekanyonyi SSS, Kiwawu SSS, St Kizito Banda, Naama SSS ne Namutamba SSS.

 

Bannamityana balabuddwa okusibwa abataweerera baana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...