TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abagize babinuse masejjere mu East African Carnival ekya Bebe Cool e Kiwaatule

Abagize babinuse masejjere mu East African Carnival ekya Bebe Cool e Kiwaatule

Added 7th April 2015

Embeera y’obunkenke mu byokwerinda eriwo akaco kano mu ggwanga terobedde badigize kulya bulamu ku nnaku za Paasika.

 

Bebe yeebazizza abawagizi be abeetabye mu kivvulu ekye ekya East African Carnival ku Easter Monday e Kiwaatule wadde nga tekyajjumbiddwa nga bulijjo

Posted by Bukedde on Tuesday, April 7, 2015

Bya Martin Ndijjo                          

Embeera y’obunkenke mu byokwerinda eriwo akaco kano mu ggwanga terobedde badigize kulya bulamu ku nnaku za Paasika.

Ku Easter Monday eggulo e Kiwatule, mu kitundu gye bakattira abadde omuwabi wa gavumenti Joan Kagezi, abadigize baalumbye na ‘mutima’ ekivvulu kya Bebe Cool, naye ataabatimaye n'aggunda emiziki egy’okukumu saako okubasiima olw’okumuwagira ebbanga lyonna ky’agamba nti kye kimu ku bimufudde omunene mu ggwanga.

Bebe Cool yategeezezza nga bwe yabadde afunye ebiragiro mu kiro ekyakeesezza olunaku lw’ekivvulu okukisaazamu olw’ensonga y’ebyokwerinda kyokka yasobodde okukwatagana n’ab’ebyokwerinda ne bayiwa abakuumi omwabadde abasirikale ba poliisi, poliisi y’amagye n’ab'ebitongole by’obwannannyini mu buli kanyomero munda n’ebweru olwo omuziki ne guvuga.

 “Nsooka okwetonda olw’ebyo ebiyinza okuba nga tebitambudde bulungi naye okutwaliza awamu ku mulundi guno ebintu tebibadde byangu olw’embeera fenna gye tumanyi eriwo mu ggwanga era n’ekivvulu kino baabadde bandagidde nkisaazemu naye mwebale kujja,” Bebe Cool bwe yeebazizza abawagizi be.

Bebe Cool era agamba nti embeera eno ye yamulemesezza n’okuyoola ssente nga bw'atera okukola mu bivvulu by'ategeeka mu kifo kino kubanga tekyajjumbiddwa nnyo nga bwe kiteera okuba.

 

 

Ebifaananyi bya MARTIN NDIJJO

Posted by Bukedde on Tuesday, April 7, 2015

Ekivvulu kya Bebe Cool e Kiwaatule tekijjumbiddwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'amasomero g'obwannannyin...

ABAKULIRA amasomero g’obwanannyini bateegezezza nga bwebetegese okuddamu okusomesa abaana.

NABILLAH ABUUZIZZA ABA FDC ...

Mercy Walukamba, akulira akakiiko k’ebyekulonda mu kibiina kya NUP, yalangiridde Nabillah ku buwanguzi oluvannyuma...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...