TOP

'Museveni' asannyalazizza emirimu mu Bukedde

Added 9th April 2015

‘MUSEVENI’ akyadde mu ofiisi za Bukedde n’asannyalaza emirimu alagidde abakozi bonna beewandiise mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka Ronald Mutebbi II ag’emyaka 60 n’akwasa Kabushenga ebbaasa.

Bya BENJAMIN SSEBAGGALA

‘MUSEVENI’ akyadde mu ofiisi za Bukedde n’asannyalaza emirimu alagidde abakozi bonna beewandiise mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka Ronald Mutebbi II ag’emyaka 60 n’akwasa Kabushenga ebbaasa.

Kazannyirizi Herbert Segujja (Museveni) ayambala era n’azannya nga Museveni y'azinze Bukedde n’alambula nga buli w’atuuka mu nkiiko aziyingiramu n’ayogera olwo n'abaleka nga bafa nseko!

Yagambye nti agenda kwetaba mu misinde n’abuuza akulira Vision Group, Robert Kabushenga oba naye anabeerayo bw’akkirizza n’amulagira nti alina kumuddukira mu mugongo tageza n’amuyisa.

Bwe yatuuse ng’awali abakozi abamu ne babamwanjulira ng’alagira nti “oyo mumunywereze mu kifo ekyo” ate bw’atuuse awamu ne bamwanjulira abalala n’alagira omuyambi we nti “abo bawandiike”.

Yayingidde mu lukiiko lw’abakulu nga bateesa n’abalagira okuyimirira olutandise okwogera n’abategeeza  nti bw’awummula obwa pulezidenti ajja kukolera mu Vision Group.

 

Olwamaze okulambula wonna n’akwasa Kabushenga ebbaasa eya kkaki kyokka tayanjudde kirimu ne yeeyongerayo.

 

Kazannyirizi Herbert Segujja ('Museveni') ayambala era n’azannya nga Pulezidenti Museveni y'azinze Bukedde n’alambula...

Posted by Bukedde on Thursday, April 9, 2015

''Museveni'' akyankalanyizza emirimu mu Bukedde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu