
Bya PADDY BUKENYA, MPIGI
POLIISI ekutte omusajja kaggwe ensonyi eyakakkanye ku muwala we ew'emyaka 10 gyokka nga muyizi mu kibiina ekyokusatu n'amusobyako.
Francis Kakooza, 35, omutuuze w'e Galatiya mu gombolola y'e Kiringente y'akwatiddwa oluvannyuma lw'okugezaako okusobya ku muwala we (amannya gasirisiriddwa) omulundi ogwokubiri kyokka n'amwessimattulako n'addukira ku mulirwano n'abategeeza nga kitaawe bwe yabazizza nga batoobe ne jjajjaabwe beebase n'asooberera n'amusobyako omulundi ogusooka kyokka ogwokubiri n'adduka.
Omwana ono asoma mu kibiina ekyokusatu mu Ssekiwunga Primary School, yatwaliddwa abakulumebeze b'e Kiringente mu ddwaaliro lya Ssekiwunga Health Centre III okwekebejjebwa , omusawo n'akakasa nti kituufu yasobezeddwako.
Abatuuze bagamba nti omwana abadde abeera ne jjajjawe, Teopista Namirembe, 80 oluvannyuma lwa maama we eyategeerekeseeko erya Namuli okunoba n'abalekawo nga bato kyokka ennyumba ya jjajjaabwe n'egwa olwo ne basengukira ewa Kakooza gye bamaze emyezi ena.
Akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi y'e Nakirebe, David Kazibwe yaggudde ku Kakooza omusango gw'okusobya ku mwana atanneetuuka ku fayiro nnamba CRR/64/15 wadde nga Kakooza n'okutuusa kati omusango akyagwegaana.
Yasindikiddwa ku kitebe kya poliisi e Mpigi era akulira okunonyereza ku buzzi bw'emisango, Rose Natukunda n'addamu okutwala omwana ono mu ddwaliro eddene e Mpigi, nayo omusawo n'akakasa nti yasobezeddwako.
Natkunda yategeezezza nti Kakooza waakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe.
Taata bamugggalidde lwa kusobya ku muwala we