TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gen. Sejusa ne Sebaggala beevumbye akafubo n'aba DP

Gen. Sejusa ne Sebaggala beevumbye akafubo n'aba DP

Added 14th April 2015

EYALI omukwanaganya wekitongole kya gavumenti ekikessi ,Gen David Sejusa amanyiddwa nga David Tinyefunza , olwaleero alumaze ku kitebe kya DP nga yeegeyaamu n'abakulu mu kibiina ekyo.

 Bya Paul Mayinja

EYALI omukwanaganya wekitongole kya gavumenti ekikessi ,Gen David Sejusa amanyiddwa nga David Tinyefunza , olwaleero alumaze ku kitebe kya DP nga yeegeyaamu n'abakulu mu kibiina ekyo.

 

Sejusa akafubo akabaddemu n'abakulu okuli eyali Meeya wa Kampala, Nasser Ntege Sebaggala ,Ssabawandisi wa DP Matia Nsubuga, ssentebe wa DP Baswale Kezaala n'abalala ku ngeri gye bagenda okutambuzaamu eby’okulonda mu kalulu akajja mu mwaka gwa 2016.

 

Mu nsisinkano eno Sejusa mw'asinzidde n'avumirira ebibiina ebiri ku ludda oluvuganya Gavumenti, ebiwang'ana n'ategeeza nti kuno kubeera kweryamu lukwe ne balemelerwa n’okutuuka ku kigendererwa eky’okukola enkyukakyuka mu ggwanga.

 

"Kino kye kiseera okukwatagana, buli kibiina kiwe kinaakyo ekitiibwa saako okuwang'ana amagezi agasobola okututuusa obulungi ku buwanguzi,” Gen Sejusa bwe yategeezezza

 

Yalaze okunyolwa olw'ebibiina ebimu ebyetwala ng'ebyekitalo ne bireka ebimu ku mabbali mu nkola eziruubirira okuleeta enkyukakyuka mu nsi yattu Uganda.

 

AYOGEDDE KU KAKIIKO K'EBYOKULONDA:

 

Sejusa bwe yatuuse ku by’okulonda kwa 2016 yagambye abakulira akakiiko balina okufaayo ennyo okutereeza enkalala z’abalonzi , kasunsulemu abatali Bannayuganda okubatangira obuteenyigira mu kukuba kalulu.

 

Yanokoddeyo  ensi nga  Bungereza gye yayogeddeko nti ewaabwe omuntu atatuukiriza bisaanyizo bimufuula munnansi takkirizibwa yadde okuvuga mmotoka, okulonda okuggyako ng'atuukirizza ebimufuula munnansi waayo.

 

 

Gen. Sejusa ng'ayogera n'aba DP mu lukung'aana lw'abamawulire. EBIFAANANYI BYA PAUL MAYINJA

 

"Kuno kubeera kuyisa mu demokulasi lugaayu singa buli muntu amala gakkirizibwa okulonda ,newankubadde nga abagwiira tubaagala wabula tebalina kumala gakuba kalulu nga tebamaze kwekenneenyezebwa. Okukuba akalulu buvunaanyizibwa bwa bannyinimu,” Sejusa bwe yakkaatirizza.

 

AYOGEDDE KU BY’OKUVA MU MAGYE:

 

Ku nsonga y'okuva mu magye, Gen. Sejusa yategeezezza nti newankubadde teyafulumidde ku lukalala lw'abaasaba okuva mu magye, kino tekimugaana kukola by'ayagala ng'omuntu wa bulijjo kubanga Pulezidenti ye akimanyi nti yawummula dda, n'agamba nti ebyo ebikyali mu mpapula nga bimulaga nti tanannyuka magye tebimugaana kugenda mu maaso na mirimu gye wamu n'enteekateeka ze ng'omuntu.

 

Ye ssentebe wa DP,  Baswale Kezaala okukyala kwa Sejusa ne Sebaggala ku kitebe kya DP mu Kampala yakwogeddeko nga akabonero akooleeka nti DP kye kibiina ekikyasinze obwesimbu kubanga okuviira ddala mu myaka gy'e 60, buli mufuzi anaafuga Uganda asooka kubeebuuzaako.

 

Kezaala yewaanye nti ; "Leero bano be bazze era tusuubira n'abalala bangi abakyajja mu DP kubanga ffe tusinga okumanya eby’obufuzi bya Uganda”.

Gen. Sejusa ne Sebaggala beevumbye akafubo n''aba DP

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulabirizi Luwalira ng'asimba omuti.

Ekkanisa ne bwekwata omulir...

Omulabirizi w'e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde...

Bisaka

Kiikino ekiraamo kya 'katon...

OWOBUSHOBOZI Bisaka yalese alaamye omulambo gwe bagukaze buli mugoberezi anaagenda ng’okusaba agulabeko ng’ekijjukizo....

Omujaasi Namutebi ku nnyumba ye gye baakoonye.

Omujaasi wa UPDF ali mu maz...

OMUJAASI wa UPDF ali mu maziga. Nnannyini ttaka amukoonedde ennyumba n’egwa ku ttaka ng’agamba nti tamwagala ku...

Omubaka Sserubula ne mukyala we nga babasabira.

Be baawangudde mu kalulu te...

SSAABADINKONI w'obusaabadinkoni bwa Lugazi, Canon George William Kityo agumizza abeetabye mu kalulu ne babawangula...

Zaake ng'alaga ekisipi ekimuyambako okugumya ekiwato

Zaake alumirizza abaserikal...

Omubaka wa munisipaali y’e Mityana Francis Zaake alumirizza abaserikale abaamutulugunyiza e Kireka okuddamu okumutulugunya...