
Bya ALICE NAMUTEBI
OKUJULIRA kwa Tom Nkurungira, abangi gwe bamanyi nga Tonku alindiriridde okuwanikibwa ku kalabba olw’okutta muganzi we n'amusula mu kinnya kya kazambi kugudde butaka.
Tonku yaleeteddwa ku kkooti ejulirwamu ku Lwokubiri kyokka munnamateeka we, Benson Tusasirwe n'ategeeza abalamuzi abaabadde bakulembeddwamu Augustine Nshimye nti ssi mwetegefu kugenda mu maaso n’amusango kubanga tannafuna budde kwetegereza fayiro y’omusango n’engeri gye gwasingamu omuntu we.
Mu mwaka gwa 2010 , omulamuzi Rugadya Atwooki yasingisa Tonku ogw’okutta muganzi we Brenda Karamuzi era n'amuwa ekibonerezo kya kuwanikibwa ku kalabba ky'awakkanya kati.
Abalamuzi balagidde omusango gwongezebweyo okutuusa nga 4 May ne balabula munnamateeka wa Tonku nti tebajja kuwulira nsonga yonna singa alemererwa okwanjula omuntu we kw'olwo.
Tonku avunaana omulamuzi Rugadya eyamusingisa omusango okulemererwa okuwewa obujulizi bw'abantu 17 abamulumiriza n'akomekkereza ng'amusingisizza omusango era n'alagira awanikibwe ku kalabba.
Kyategeezebwa nti wakati January 21, 2010 ne January, 30, 2010 mu Kijjwa Zone e Bukasa, mu ggombolola y'e Makindye, Tonku yatta muganzi Brenda Karamuzi n’oluvannyuma n'awa omuyambi we, Fred Ssempijja ssente akakadde kamu amuyambeko okusitula omulambo bagusuule mu kinnya kya kazambi.
Tonku eyatta muganzi we omulambo n''agusuula mu kinnya teyeeyimiriddwa