TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Paasita Mulinde asabye Gavt. esseewo etteeka ekkakali ku batunda asidi

Paasita Mulinde asabye Gavt. esseewo etteeka ekkakali ku batunda asidi

Added 20th April 2015

OMUSUMBA Umaru Mulinde asumba ekkanisa ya Gospel life Church International e Namasuba asabye Palamenti ya Uganda eteekowo mangu etteeka ku batunda asidi mu butale obw’omubuulo n’ebifo ebirala.

 Bya LAWRENCE KITATTA

OMUSUMBA Umaru Mulinde asumba ekkanisa ya Gospel life Church International e Namasuba asabye Palamenti ya Uganda eteekowo mangu etteeka ku batunda asidi mu butale obw’omubuulo n’ebifo ebirala.

Mulinde bino yabyogeredde mu Balokole abaabadde mu Kisaawe e Nakivubo mu kusaba okwategekeddwa omusumba Jamada Gyagenda Kikomeko ku Lwokuna e Nakivubo okusabira eggwanga okugenda mu maaso n’okubukalamu emirembe.

Yattottoledde abakkiriza abaakung’anidde e Nakivubo ennaku gye yayitamu ng’ayiiriddwa asidi n’okusoomoozebwa kwonna kwe yayitamu ng’ayiiriddwa asidi eyamukomya ku mugo gw’entaana.

Abamu ku baabadde mu kusaba.

Omusumba Jamada yasabye abakkiriza abaabadde e Nakivubo okusabira eggwanga eriri mu kwerinda abatujju buli kiseera abalitadde ku bunkenke Omukama asobole okutukuuma nga tuli balamu era atuwonye abantu ab’emitima emibi.

.............................................................................................

Ebirala ku Mulinde......

 

.............................................................................................

Paasita Mulinde asabye Gavt. esseewo etteeka ekkakali ku batunda asidi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...