TOP
  • Home
  • Amawulire
  • oluvannyuma lwa Kabaka okkwasibwa ekismuluzo kya Masengere, Katikkiro wakulangirira ekiddako omwezi oguggya

oluvannyuma lwa Kabaka okkwasibwa ekismuluzo kya Masengere, Katikkiro wakulangirira ekiddako omwezi oguggya

Added 22nd April 2015

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti waakulangirira eri Obuganda pulojekiti egenda okuddamu okusonderwa ensimbi nga May 11,2015 mu Lukiiko lwa Buganda olukulu kubanga Buganda tesobola kubeerawo ng’eyimiridde ku Masengere yokka.


Bya DICKSON KULUMBA NE MADINAH NALWANGA

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga agambye nti waakulangirira eri Obuganda pulojekiti egenda okuddamu okusonderwa ensimbi nga May 11,2015 mu Lukiiko lwa Buganda olukulu kubanga Buganda tesobola kubeerawo ng’eyimiridde ku Masengere yokka.

Mayiga yagambye nti, “ Bangi mu kiseera kino beewuunya nti Masengere yawedde ate lwaki Katikkiro akyatikkula ettofaali! Tukyalina bingi eby’okukola ate ne ku Masengere wakyaliwo ensimbi ezikyatubanjibwako n’olwekyo lawundi y’ettofaali eno gye mbazzeemu egenda kututuusa ku lwa May 11,2015 lwe ng’enda okulan-girira pulojekiti eddako.”

Katikkiro okwogera bino yasinzidde mu ggombolola y’e Kira mu ssaza ly’e Kyadondo gye yatandise okutikkula abantu baayo ettoffaali olunaku lw’eggulo ng’agenda kulikomekkereza olwaleero n’agamba nti essanyu abantu lye bafunye nga Masengere ewedde terisobola kubeerera olw’ekizimbe kino kyokka wabula nga waliwo pulojekiti nnyingi ezeetaaga okukola, eggwanika okufuna ensimbi ezitambuza Obwakabaka.

Mu lulambula luno, Mayiga ne Buganda Twezimbe abakulembed¬dwaamu Julius Ssempala ne Paul Sembatya Mulundannume, baalutandikidde ku Global Paints, Steven Kayiwa ne banne ne bawaayo 6,450,000/-, e Kireka mu ppaaka ya loole 3,229,000/-

Mu maka g’Omutaka Erukana Ssegane e Bukasa ng’ono y’azaala
Minisita wa Kabaka ow’ebyobulambuzi, Rita Namyalo Kisitu, Ssegane yawanjagidde Katikkiro obutake¬mebwa kusuusuutibwa mu kiseera kino ne yeesogga ebyobufuzi wabula aweereze Obwakabaka bwe ne Kabaka nga bino bye bigenda okumuyamba oku¬kuuma ekitiibwa kye.

Ebitundu ebirala Katikkiro gye yatuuse kuliko e Kireka Rehabilitation Centre nga wano yaggyeewo 6,782,000/-
Mu kifo ky’Abadiventi e Kireka, Mayiga yayanirizid¬dwa Omulabirizi wa Buganda, James Kajja eyawadde Katikkiro amagezi okugenda mu maaso n’okuyiiya enkola ezinaayamba okuzimba Obuganda era wano yakwasiddwa 7,240,000/-

Abakulembeze mu kitundu kino okuli Kaggo Pat¬rick Mugumbule, Meeya Mamerito Mugerwa, Omu¬baka Ssemujju Nganda, Ssaabaddu wa Kira, Betty Namukwaya ne baminisita ba Kabaka Noah Kiyimba, Wamala Gagganga baayaniriza Katikkiro.

Mu bifo ebirala kwabaddeko, Bukasa 2,644,000/-, Moth¬er Manjeri 3,000,000/-, Kirinya SS 2,320,000/-, St.Thomas Parish, Eco Petrol, ewa Rabbi Mulondo n’amaliririza ku St. Johns SS. Katikkiro we yamalidde nga bakuhhaanyiza ettof¬faali lya bukadde 54.

 

oluvannyuma lwa Kabaka okkwasibwa ekismuluzo kya Masengere, Katikkiro wakulangirira ekiddako omwezi oguggya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...