TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayizi b'e Makerere 3 basindikiddwa ku alimanda e Luzira lwa kutta munnaabwe

Abayizi b'e Makerere 3 basindikiddwa ku alimanda e Luzira lwa kutta munnaabwe

Added 25th April 2015

KKOOTI ya Buganda Road esindise ku alimandi e Luzira abayizi ba Yunivasite y'e Makerere basatu, abagambibwa okutta omuvubuka.

BYA Eva Naluwagga

KKOOTI ya Buganda Road esindise ku alimandi e Luzira abayizi ba Yunivasite y'e Makerere basatu, abagambibwa okutta omuvubuka.

Martin Mutungi 21, Marvin Atukwase 21 ne Derrick Wakooli 23 be baasindikiddwa omulamuzi Joan Aciro, owa kkooti ya Buganda mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw'okubasomera omusango gw'okutta David Ojok 25, eyali agenze okubanja emitwalo 50 mu kisulo kya Nkrumah e Makerere ne bamuteebereza okuba omubbi ne bamukuba amayinja ne bamutta.

Wabula looya w'abavunaanibwa Munekakine Mwesigye yasabye omulamuzi okuleeta obukakafu obulumika abavunaanibwa ogw'okutta Ojok David n'ayongerako nti abavunaanibwa baludde mu kaduukulu ka poliisi e Wandegeya okumala wiiki bbiri ekityoboola eddembe ly'omuntu.

Ojok kigambibwa yalina omuyizi gwe yali abanja emitwalo 50 mu kisulo kya Nkrumah era n'amusuubiza okumusasula ku lunaku lwe yattibwa nga yamuyita ku ssaawa 4 ez'ekiro okunona ssente kyokka Ojok we yatuukira mu kisulo nga gw'abanja taliiwo bwe yakonkona abaalimu ne bakuba enduulu nti mubbi olwo abayizi ne beesomboola ne bakuba Ojok amayinja omuli n'okumwokya obuveera n'afa nga yaakatuusibwa e Mulago.

Ojok yali yakuguka mu ssomo lya Computer Science ku yunivasite e Makerere emyaka ena egiyise era abadde alina ekifo w'akanikira kompyuta e Makerere Kikoni ekiyitibwa Poly Gang Computer Systems.

Abadde amanyiddwa nnyo e Wandegeya ne ku ttendekero e Makerere olw'omulimu gw'okukanika kompyuta. Omusango guddamu nga 7/05/15. 

Abayizi b''e Makerere 3 basindikiddwa ku alimanda e Luzira lwa kutta munnaabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...