
Bya DEBORAH NANFUKA
ABATEMU balumbye ssemaka, mukyalawe n'abaana bana ne babayiira asidi e Wakiso lwa mpalana za ttaka.
Henry Ssozi Kikomeko 60, mukyala we Agnes Nakacwa Kigongo 48 n'abaana baabwe okuli Rosset Nakate 10, Patricia Nampijja 3, Prossy Nabbale 3, ne Vanesa Sikyomu bonna baatwaliddwa e Mulago nga bayiiriddwa asidi.
Obutemu buno bubadde ku kyalo Wabiyinja e Masuuliita mu disitulikiti y’e Wakiso ku ssaawa bbiri ez'ekiro.
Nakacwa agamba nti, bba yagenze e Namirembe okuteesa ku nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa kwe bali basobole okutema empenda olw'omugagga alibagobako.
Yakomyewo ku ssaawa bbiri ez'ekiro n'ayingira mu nnyumba yabadde yaakatuula abasajja babiri ne bamuyita era olwagguddewo oluggi ne bamuyiira asidi eyasammukidde abalala.
Taata, Maama n''abaana 4 babayiiridde asidi e Wakiso