TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssemaka ow'abakazi 2 bamukutte lubona ng'asobya ku muwala we ow'emyaka 6!

Ssemaka ow'abakazi 2 bamukutte lubona ng'asobya ku muwala we ow'emyaka 6!

Added 27th April 2015

SSEMAKA ow’abakazi ababiri yaswadde yasangiddwa lubona ku mwana ow’emyaka 6. Ronald Mutebi, 55, omutuuze w'e Gwambwa mu ggombolola y'e Nalutuntu mu ssaza ly’e Kassanda mu disitulikiti y’e Mubende yakwatiddwa ku Ssande.

 BYA MOSES LEMISA

SSEMAKA ow’abakazi ababiri yaswadde yasangiddwa lubona ku mwana ow’emyaka 6. Ronald Mutebi, 55, omutuuze w'e Gwambwa mu ggombolola y'e Nalutuntu mu ssaza ly’e Kassanda mu disitulikiti y’e Mubende yakwatiddwa ku Ssande.

Abatuuze abaamugwiikirizzabe baakubye enduulu eyasombodde ekyalo n’atwalibwa ku poliisi wakati mu byokwerinda eby’amaanyi olw’abantu abaabadde baagala okumugajambula nga bagamba nti si ggwe gwabadde omulundi ogusoose ng’asobya ku baana abato.

Abatuuze nga bakung'aanidde ku ofiisi za LC 1 e Gwambwa JMutebi we yabadde awozesebwa . EBIFAANANYI BYA MOSES LEMISA

Omutuuze Emma Ssekinkubye Ssembalirwa yategeezezza nti wadde Mutebi alina abakazi babiri, azze asobya ku baana ab’enjawulo n’atwalibwa ku poliisi y’e Kasanda ne Mubende.

Olw’okuba azze ayimbulwa, ku luno abatuuze baabadde baagala kumwekolerako. Mutebi yasabye asonyiyibwe n’asuubizza obutakiddamu.

Ssemaka ow''abakazi 2 bamukutte lubona ng''asobya ku muwala we ow''emyaka 6!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...