TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuyimbi wa kadongokamu Ssegawa ali Luzira lwa bbanja

Omuyimbi wa kadongokamu Ssegawa ali Luzira lwa bbanja

Added 10th May 2015

OMUYIMBI Vincent Ssegawa asindikiddwa mu kkomera e Luzira olw’okulemererwa okusasula ssente obukadde 20 ze yeewola ku John Kabanda okukola ekivvulu kya ‘Ssapule.’

 OMUYIMBI  Vincent Ssegawa asindikiddwa mu kkomera e Luzira olw’okulemererwa okusasula ssente obukadde 20 ze yeewola ku John Kabanda okukola ekivvulu kya ‘Ssapule.’

Bino byabaddewo ku Lwokutaano, Ssegawa bwe yakwatiddwa bawanyondo ba kkooti aba T/A Gazza Associates & Auctioneers abaakulembeddwamu Martin Bwoya abaamuggye e Bukomansimbi – Butenga n’atwalibwa butereze mu kkooti y’omulamuzi ow’edaala erisooka e Mengo, Javena Natukunda oluvannyuma lw’okufulumya ekiragiro ekimukwata.

Ssegawa baamusomedde omusango n’agwegaana ng’agamba nti Kabanda tamumanyi era tamwewolangako ssente. Omulamuzi Natukunda yamusindise e Luzira okutuuza ku Mmande lw’anaakomezebwawo, omusango guddemu okuwulirwa. 

Kabanda yagambye nti yawola Segawa obukadde 16 bweyali mu T/Friends Production era ne bakola endagaano ng'ajja kumuddiza obukadde 18 nga bino byaliwo mu mwaka gwa 2013 bwe yali agenda okutongoza olutambi lwe olwa Sapule muzambulemu muli bakafiiri’.

Wabula ebivvulu bwe byaggwa natamusasula kwekusalawo okugenda mu kkooti Segawa mu kutwalibwa e Luzira yagambye nti Kabanda agezaako okumusibako omusango gwatamanyi asobole okumuggyamu ssente kuba takolangako naye ndagaano yonna.

Omuyimbi Segawa amanyiddwa oluvannyuma lwa munne Mathias Walukagga eyaakafulumya oluyimba olwa ‘Bannabuddu Tuli beerufu era twasala Lwera kujja kukola’  okujuliza nti ekitundu eky’okubiri munne Segawa yajja okukifulumya.

Omuyimbi wa kadongokamu Ssegawa ali Luzira lwa bbanja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...