TOP

Bayodde 65 okuli ne bamalaaya e Nateete

Added 15th May 2015

POLIISI y’e Nateete ekoze ekikwekweto mu kiro ekyakeesezza Olwokuna n’eyoola abantu 65 okwabadde ne bamalaaya.

Bya ALI KIZZA ne MARTIN KIZZA
POLIISI y’e Nateete ekoze ekikwekweto mu kiro ekyakeesezza Olwokuna n’eyoola abantu 65 okwabadde ne bamalaaya.

Ekikwekweto kyatandise ku ssaawa 6:30 okutuuka ku 11:00 nga bukya. Poliisi yatalaaze ebisanyukirwamu ebisingamu abayaaye abateega abatambuze ekiro n’ebirala bamalaaya mwe
beetundira.

Baatandikidde mu Nateete Central A gye baakwatidde omuvubuka aludde ng’anoonyezebwa ku musango gw’okudduka n’empingu za poliisi bwe yali akwatiddwa gye buvuddeko.

Yasangiddwa anywa bbiya mu paakingi ya mmotoka emabega wa paaka y’e Nateete.
Baagenze e Mutundwe ne baggukira ku leerwe awali ekifo ekyakazibwako “Birut” we baakwatidde
abavubuka abaasangiddwa mu bitoogo.


E Nalukolongo ku bbaala ya Orange nawo poliisi yayoddewo abavubuka abaasangiddwa nga bafuuweeta ebiragalalagala e busukka kkubo abassiddwa ku mpingu olwo n’etalaaga ebitundu
omwabadde Nanfuka zooni ne Labamba.

Baasembyeyo ne ku Mabiito mu muluka gwe Nateete ekifo awakung’anira bamalaaya ng’eno
poliisi yalwanye n’abavubuka abaabadde ne bamalaaya n’ekwatako abawera.


Akulira ebikwekweto ku poliisi y’e Nateete, Santos Thomas yategeezezza nti baakutte abantu 65
nga mukaaga ku bo bamalaaya era bonna bassiddwa mu kaduukulu ne basunsulwamu enkeera

Bayodde 65 okuli ne bamalaaya e Nateete

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...