TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyeeyita maneja w'omuyimbi Sheebah n'aggya ku bantu ssente bamukutte

Eyeeyita maneja w'omuyimbi Sheebah n'aggya ku bantu ssente bamukutte

Added 19th May 2015

OMUVUBUKA abadde yeeyita maneja w’omuyimbi Sheebah Karungi n'anyaga abantu gamunyukidde ku poliisi.

Bya Martin Ndijjo

OMUVUBUKA abadde yeeyita maneja w’omuyimbi Sheebah Karungi n'anyaga abantu gamunyukidde ku poliisi.

Charles Kazibwe olumu nga yeeyita Ranks y’akwatiddwa ku poliisi ya CPS mu Kampala nga kigambibwa aliko ab’amabbaala ag’enjawulo mu Kampala n’emiriraano b'azze aggyako ssente mu lukujjukujju ng’abalimba nga bw’ali maneja wa Sheebah n’agattako n’okubawa lisiiti mu mannya ga ‘Team No Sleep’ ng’abasuubizza okumuleeta okuyimba ku mikolo gyabwe n’ebivvulu.

Sheebah (wakati) ng'akola sitatimenti ku CPS mu Kampala

Kazibwe okukwatibwa kyaddiridde okusaba aba Club Zodiac Lounge & Grill eyadda awaali Steak-out  emitwalo 90 ng’abasuubizza okuleeta  Sheebah okuyimba ku 29/May/ 2015, olunaku ekifo kino lwe kigenda okuggulwawo mu butongole ne bamuwaako 250,000/- bbalansi yabadde wa kumufuna ku lunaku lw’omukolo.

Omu ku bawala abaalumirizza okufunira Sheebah emirimu gy'okuyimba ng'ali ku Poliisi

Wabula bano baasobeddwa ate bwe baalabye ekipande ku mukutu gwa Sheebah ogwa Face book ekiraga nga bw’alina ekivvulu ne Pallaso ku lunaku lwe lumu (29/May/ 2015) e Cairo mu Egypt, baatandikiddewo okunoonya Kazibwe nga bayita mu katego k'okumuwa ddiiru endala baasobodde okumukwata ne bamutwala ku CPS kyokka okutuukayo nga n’aba Victoria Club e Kireka bamunoonya ku misango gye gimu. Kalibba Ssaka.

Ezimu ku liisiti Kazibwe z'abadde akolera ba maneja b'amabbaala oluvannyuma lw'okumusasula ssente

Saaka Kalibbala, maneja wa Victoria Club yategeezezza nti nga 10/4/2015 yawa Kazibwe emitwalo 40 ku kakadde akamu ke yali asabye okubaleetera Sheebah olwo bbalansi amufune ku lunaku lw’okuyimba kyokka ono teyalabikako abadigize ne bonoona ebintu by’omubbaala nga babalanga okubalimba omuyimbi n'atayimba.

Kazibwe yalemeddeko nti y’omu ku bayamba Sheebah okuddukanya emirimu era talina ssente z’akwata nga Sheebah tamanyi kubanga y'amutuma wabula Sheebah eyabadde n’omuyambi wa maneja we, Dirisa Bukenya yeegaanye okuba n’enkolagana ne Kazibwe, kwe kulaga  lisiti bbo gye bagamba nti  y’entuufu ey'ekibiina era Sheebah gy'akozesa ng’eriko ‘Team No Sleep Management’ .

Omuyimbi Sheebah Karungi ng'alya mu ndago gye buvuddeko. Ebifaananyi bya Martin Ndijjo

Wabula oluvannyuma lwa poliisi okumukunya Kazibwe yatandise okwogera ebitakwatagana abapoliisi ne basalawo okumuzzaayo mu kaduukulu ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti Kazibwe yagguddwako omusango gw’okufuna ssente mu lukujjukujju oguli ku fayiro nnamba CRB 4416/2015 era we baamukwatidde ng’alina ddiru ya 650,000/- gy’agezaako okukutula n’aba Muzanzi Club ku muyimbi y'omu Sheebah.

 

 

Eyeeyita maneja w''omuyimbi Sheebah n''aggya ku bantu ssente bamukutte

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...