TOP

KCCA ereese ebyuma okutereeza ekibuga

Added 22nd May 2015

KCCA ereese ebyuma eby’omulembe ebigenda okuketta n’okukwata abazimba mu bibangirizi by’enguudo, ku ttaka ly’emyala ne mu bifo ebyalekebwawo Gavumenti okusimbamu ebimuli n’omuddo okulabisa obulungi ekibuga. Ebyuma bino era bijja kulondoolanga ebinnya ebiri mu nguudo biddaabirizibwe.

Bya HANNINGTON NKALU BO

KCCA ereese ebyuma eby’omulembe ebigenda okuketta n’okukwata abazimba mu bibangirizi by’enguudo, ku ttaka ly’emyala ne mu bifo ebyalekebwawo Gavumenti okusimbamu ebimuli n’omuddo okulabisa obulungi ekibuga.
Ebyuma bino era bijja kulondoolanga ebinnya ebiri mu nguudo biddaabirizibwe.

Mu ntegeka eno era emalirizza okukuba maapu ya Kampala empya egenda okuyamba abazimba n’abakolera emirimu mu
Kampala okumanya enguudo ne kalonda w’ebintu naddala ebifo ebiri mu kibuga.

Dayirekita w’enguudo, Andrew Kitaka ye yatongozza ebyuma bino n’agamba nti byonna bibamazeeko ssente ezisoba mu bukadde 500 nga kuliko n’omusolo.

Yategeezezza nti entegeka yonna erimu okukozesa ebyuma, okupangisa ennyonyi, okunoonyereza n’okuzuula enguudo empya n’eziwomoggose ssaako okussa ebintu byonna mu kompyuta nga buli muntu w’abeera abifuna ng’egenda kubamalako obuwumbi mwenda.

Yagambye nti ebyuma bye bafunye babisiba ku mmotoka n’etambula ng’ekuba ebifaananyi n’okupima ettaka n’okuzuula ebibeerako.

Kitaka yagambye nti KCCA ekolaganye ne kkampuni z’abakugu ssatu okuli eya FUGRO okuva e Bungereza, Euro Photos ne Transport Research Laboratory okutuukiriza buli kye baagala.

Kitaka y ategeezezza nti ebyuma bigenda kubayamba okulondoola enguudo zonna mu Kampala n’okumanya mmotoka ezitambulirako.

Yagambye nti mu bye baakazuula nga beeyambisa amagezi ag’ekikugu, maapu ya Kampala eyongedde ku bungi bw’enguudo n’obuwanvu bwazo.

Ebyuma bye bafunye mulimu kkamera, kompyuta, leediyo bye basiba ku mmotoka n’etambula ng’abakugu bwe babikozesa.

Kitaka yasabye Bannakampala nti bwe balaba ebyuma bino nga bikola emirimu egy’enjawulo omuli okupima enguudo, ettaka n’okukozesa kkamera tebatya kuba y’enkola empya ereeteddwa.
Omu ku bakugu okuva e Bungereza,

Will Throssel yagambye abakozesa ebyuma bino nti singa bikozesebwa bulungi, KCCA tegenda kuddamu kukaluubirizibwa okunoonya n’okulondoola ebinnya mu nguudo n’abazimba mu bibangirizi by’enguudo

 

KCCA ereese ebyuma okutereeza ekibuga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...