
Bya AHMED KATEREGGA
SSAABAWANDIISI wa NRM Muky. Justine Kasule Lumumba alangiridde nti okuwandiika Bannamuvumenti mu Buganda ne Kampala okwabadde kukomekkerezeddwa ku Ssande, kwongezeddwaayo okutuusa ku Ssande nga May 31 essaawa 12.00 ez’ekawungeezi, kisobozese ababadde batanneewandiisa nabo okufuna omukisa.
Mu kiwandiiko kye yafulumizza eggulo okwabadde omukono gwe kennyini, Lumumba yagambye nti okwagala, obuwagizi n’obujjumbize abantu b’omu Buganda ne Kampala bwe balaze nga beewandiisa mu NRM, bwe butuusizza abawandiisi wiiki emu obutabamala, bwatyo n’agamba nti okwewandiisa kugende mu maaso okumalako wiiki eno.
Yategeezezza nti okuwandiika Bannamuvumenti mu buvanjuba bwa Uganda kwatandise ate mu bugwanjuba bwa Uganda kutandika
NRM eyongezzaayo okwewandiisa