TOP

Bba wa Stecia ateereddwa ku kakalu ka kkooti

Added 12th June 2015

ABAS Mubiru bba w’Omuyimbi Stecia Mayanja atuuyanye okusasula akakadde k’ensimbi ng’omulamuzi Lillian Buchana owa kkooti ya Buganda Road amukkirizza okweyimirirwa.

 

BYA JOSEPH MUTEBI

ABAS Mubiru bba w’Omuyimbi Stecia Mayanja atuuyanye okusasula akakadde k’ensimbi ng’omulamuzi Lillian Buchana owa kkooti ya Buganda Road amukkirizza okweyimirirwa.

Omulamuzi yamuwadde obukwakkulizo okumukkiriza okweyimirirwa okwabadde okuleka paasipooti ye mu kkooti wabula bwe yategeerezzaawo nti tagirina olwo kwe kumulagira waakiri aleete ekintu ekirimu omuwendo gw’ensimbi ng’ekyapa.

Baamuzzizza mu kaduukulu olwo abaabadde bamuwondera ne batandika okusattira okunoonya ekyapa n’ensimbi okusasula asobole okweyimbulwa ate abamweyimiridde babiri buli omu yalagiddwa okusasula obukadde bubiri ezitali za buliwo.

Okumukkiriza okumweyimirira eggulo, yasoose kuleetebwa mu kkooti ku Lwokuna Omulamuzi n’alagira addizibwe mu kkomera nga bwe yeetegereza ebiwandiiko ebimukwatako n’eby’abaabadde bazze okumweyimirira bye baaabadde baleese.

Mubiru awolerezebwa munnamateeka Luyimbaazi Nalukoola yatwalibwa mu kkooti oluvannyuma lw’okukwatibwa ku Mmande ya wiiki ewedde ku musango gw’okufera ssente emitwalo 200,000/- kuba Mobile Money bwe yabalagira okisindiikira abantu ab’enjawulo emitwalo 100,000/- okwali ne mukyala we Stecia Mayanja wabula oluvannyuma ne yeesanga nga talinamu ssente mu mpale.

Mu kiseera kyekimu, ne Danze eyali amaze ebbanga ng’amunoonya yamukwata nga baakamuyimbula ku kigambibwa nti yamuguza ettaka 45.

Kigambibwa nti oluvannyuma yamwefuulira nti ettaka amaka g’obwapulezidenti gaali galiyingiddemu alireeke agya kumufunira eddala kyokka kuva olwo teyaddayo kumulabako ng’agenda mu maaso n’okumubuzaabuza.

Ronald Danze teyabadde mumativu n’eky’okuyimbula Mubiru ng’agamba nti yabawa obuzibu bunene okumukwata nga buli lwe
bamukubira abategeeza nti ali Mbarara ng’ate ali Kampala.

Omulamuzi yamulagidde addemu okweyanjula June 29, 2015. Kyokka ye Stecia Mayanja talabiseeko mu kkooti.

Ebirala ku Mubiru ne Stecia

Bba wa Stecia Mayanja bamuggalidde lwa kufera ssente ku kaduuka ka 'mobile money'

Poliisi ezinzeeko amaka ga bba wa Stecia lwa kufera ttaka

Bba wa Stecia Mayanja Abbas Mubiru ebintu byongenda okumwonoonekera

Stecia Mayanja awungidde mu kkooti nga bba asindikiddwa e Luzira

Bba wa Stecia ateereddwa ku kakalu ka kkooti

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...