TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akkirizza okuzza obukadde 7,800 ezaali ez'akasiimo k'abakozi

Akkirizza okuzza obukadde 7,800 ezaali ez'akasiimo k'abakozi

Added 24th June 2015

Munnamateeka agenze mu Palamenti n’akkiriza nga bwe yeekomya ensimbi z’akasiimo k’abakozi eziwera obukadde 7,800, ne yeeyama okubuzza mu ggwanika ly’eggwanga.


Bya Steven Musoke


Munnamateeka agenze mu Palamenti n’akkiriza nga bwe yeekomya  ensimbi z’akasiimo k’abakozi eziwera obukadde 7,800, ne yeeyama okubuzza mu ggwanika ly’eggwanga.

Kino kiddiridde ababaka ba palamenti okukunya munnamateeka Bob  Kasango aludde ng’alumirizibwa okwekomya ensimbi ezaali ez’okusasula abaaliko abakozi ba Gavumenti.

Munnamateeka Bob Kasango eggulo yatunuulidde ebikalu mu kakiiko ka Palamenti akalondoola ensaasaanya y’ensimbi  za Gavumenti gye yabadde agenze okwennyonnyolako   ne banne ku nsimbi zino  oluvannyuma n’akkiriza  okuzizza.

Ssentebe w’akakiiko kano, Alice Alaso  mu kusooka yayanjulidde ababaka  ebimu ku bintu ebiri mu alipoota  y’omubalirizi w’ebitabo bya  Gavumenti  omuli obuwumbi 15 obwaweebwa bapuliida abaali mu musango  gw’abakozi abaawaabira Gavumenti nga babanja akasiimo.
  

‘‘Obuwumbi 15 zaasasulwa kyokka tewali biwandiiko biraga nsaasaanya ate nga ne kkampuni  ya bannamateeka eyasasulwa mu kiseera ekyo teyaliiwo mu mateeka,’’ Alaso bwe yategeezezza.
 

  Wabula Munnamateeka Kasango bwe yasabiddwa okwewozaako n’ayogera ebintu bingi ababaka bye baagambye nti tebikwatagana okuli okubannyonnyola nti ye  wadde yali asabiddwa okuyingira mu musango guno, teyalabikako mu kkooti ebiseera byonna bye yagendayo, omulamuzi teyaliiyo olwo ne beewuunya lwaki ate yasasulwa ssente ezo.
   

Yasoose kubategeeza nga bwe yali awolereza abakozi  ba Gavumenti abaawummula 6,933 nga baagala Gavumenti ebawe akasiimo  ate olwazzeeko ne yeetema engalike nti baali  6,339 nga ku nsimbi  obukadde buna n’ekitundu buli muntu ze yafuna oluvannyuma olw’okuwangula omusango kwavaako ebitundu 30 ku buli 100 ezaasasulwa balooya.

Mu kiseera kino ababaka baabadde bamubuuza ebibuuzo eby’okumukumu ebyatuuse n’okumuggya mu mbeera era gye yawunzikidde ne yeeyama okuzza ssente zino.

Wabula yasabye akakiiko kalongoose erinnya lye nti wadde bamusibako okubulankanya ensimbi zino zaali zize nga yali azikoleredde okusinziira ku bye baali bakkaanyizzaako n’abakozi bano ng’omusango gutandika nti era okuzizza akikoze lwa kulongoosa mulimu gwe.

Mu 1998 abaaliko abakozi mu Gavumenti beekubira enduulu mu kkooti nga baagala baweebwe ez’akasiimo, omusango ne gusinga Gavumenti, kkooti n’eragira basasulwe obuwumbi 30 kyokka balooya baatwalako obuwumbi 15.

Akkirizza okuzza obukadde 7,800 ezaali ez’akasiimo k’abakozi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...