TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Brig Kasirye Ggwanga alabudde abanafuya Col Kiiza Besigye.

Brig Kasirye Ggwanga alabudde abanafuya Col Kiiza Besigye.

Added 1st July 2015

Bannabyabufuzi boogedde ku kya Kiiza Besigye okuggyayo empapula okuvuganya ku Bwapulezidenti. Abamu baagambye nti kyongera oludda oluvuganya amaanyi kubanga Besigye bw’abeera mu lwokaano ne Amama

 Bya Ahmed Mukiibi

Bannabyabufuzi boogedde ku kya Kiiza Besigye okuggyayo empapula okuvuganya ku Bwapulezidenti. 
Abamu baagambye nti kyongera oludda oluvuganya amaanyi kubanga Besigye bw’abeera mu lwokaano ne Amama

Mbabazi bombi bamanyi Museveni bajja kumufunza. 
Abalala bagambye nti okujja kwa Besigye kinafuya Mbabazi kubanga kati ekitundu kimu kivuddemu abavuganya bana - Museveni, Mbabazi, Besigye ne Baryamureeba.

Omuwanika wa NRM Rose Namayanja yagambye nti Besigye bwe yeesimbawo mu 2001 baamumegga. N’akomawo mu 2006 n’ennyondo era n’awangulwa ate mu 2011 ne bamumaliriza nga kw’olwo baamukubisa nnyondo ye.

“Besigye eky’amaanyi ky’asobola kuggyayo mpapula. Ne bwe yeegatta n’abalala tebasobola NRM kubanga yo nkota ate bo myera. Ekitebe kya NRM kirimu abavubuka abasobola okutalaaga eggwanga n’okunoonya ssente okusasulira buli ekyetaagisa”, bwe yagambye.

Besigye yaggyeyo empapula okuvuganya mu FDC okulondebwa avuganye mu kulonda Pulezidenti mu 2016.
Kasirye Gwanga: Abanafuya Besigye bajjukire nti mujaasi tasobola kuggwaamu. Bw’akomawo alina abantu be abamukkiririzaamu abo kw’ajja okutandikira. Mbabazi naye musajja mugezi ate tuwulira nti alina ssente.

Bombi bwe baba mu lwokaano basobola okuteganya Mzee.
Kyokka abalala ekya Mbabazi okuba ne ssente bakibuusabuusa naddala oluvannyuma lw’ekitongole ky’amazzi okulaga bw’abanjibwa obukadde 12.

Robert Ssebunnya, omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga za Buganda: Besigye ne Mbabazi oba beegasse oba bazze kinnoomu tekuli asobola kuwangula Museveni. Mbabazi bwe yeesimbawo tujja kulaga bwino abantu ba Buganda nti azze elemesa okutuddiza Ebyaffe.

 Brig Kasirye Ggwanga alabudde abanafuya col Kiiza Besigye nti balina okujjukira nti gwe banafuya mujaasi

Loodimeeya Erias Lukwago: Okujja kwa Besigye kwanirizibwa. Tusuubira abalala bangi okujja mu lwokaano, tulondeko anaasinza ebisaanyizo gwe tunaasimbawo ng’omukago gw’ebibiina okuvuganya Museveni.

Besigye bw’anaaba ali mu bantu nga ne Mbabazi akola ekintu kye kimu nga nange (Lukwago) n’abalala tutalaaga ggwanga, kijja kukaluubiriza poliisi okututangira. Ekinaddirira bajja kukola ensobi.

Asuman Basalirwa owa JEEMA: Besigye akyalina olutalo okuwangula mu FDC olwo tulyoke tumulowoozeeko ng’aboomukago nga tumupima n’abanaava mu bibiina ebirala.

Medard Sseggona akiikirira Busiro East: Besigye okwesimbawo emirundi esatu egiyise sinsonga. Ku luno azze na-ki ekimuwa enkizo ku balala?

Sebuliba Mutumba akiikirira Kawempe South: Okujja kwa Besigye kusoomooza eri omukago okulaga dimokulaase kwe banaasinziira okulonda gwe banaasimbawo.

 

Brig Kasirye Ggwanga alabudde abanafuya Col Kiiza Besigye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...

Owoolubuto lw'emyezi 8 alum...

ZAKIYA Sayid omutuuze mu Sankala zooni-Lukuli mu munisipaali y'e Makindye apooceza mu ddwaaliro lya Ethel clinic...

Ssaabawandiisi w'ekibiina kya Nrm Justine Kasule Lumumba ng'ayogera mu lukung'aana lwa NRM

Aba NRM bawagidde enkola y'...

EKIBIINA kya NRM kiwagidde enteekateeka y’akakiiko k’ebyokulonda ey’okuwera enkungaana mu kampeyini z’akalulu ka...

Bannakalungu mudduke abatab...

SSENTEBE w'akakiiko akalwanyisa COVID 19 era omubaka wa Gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza awabudde...