TOP

Sheikh Kirya y''aani?

Added 1st July 2015

Shiekh Hassan Ibrahim Kirya, yazaalibwa nga 2 june 1966 e Nakawa mu Kampala Kitaawe ye mugenzi Hajj Hassan Wasswa Ssesanga ate nnyina ye Hajjat Nuru Nakayiza.


Bya Ahmed Mukiibi

OBUZAALE BWA SHEIKH KIRYA
Shiekh Hassan Ibrahim Kirya, yazaalibwa nga 2 june 1966 e Nakawa mu Kampala Kitaawe ye mugenzi Hajj Hassan Wasswa Ssesanga ate nnyina ye Hajjat Nuru Nakayiza.

Emisomo yagitandikira mu Entebbe Qur'an School (Masanga) mu myaka gya 1970 gye yava okudda ku Kireka UMEA Primary School. Yeegatta ku Bilal Islamic e Bwaise gye yatuulira ekyomusanvu mu 1981.

 

Laba ne bino

Engeri Sheikh Kirya gyeyattiddwa

 

Mu 1984 y'ali omu ku baana Bannayuganda mwenda abaafuna sikaala okuva mu Islamic African Centre, Khartoum okugenda e Khartoum mu Sudan okusoma Siniya.

Okuziika Sheikh Kirya e Nkoowe

Ebifaananyi bya Rogers Kibirige

Posted by Bukedde on Wednesday, July 1, 2015

Kirya ne banne munaana , baasitula mu bibinja bisatu (3) okugenda e Sudan ng'eya basookayo ye Khartoum yali Sheikh Lumala Shazil ne Ezzelddeen Haggaaz abaasitula mu wiiki esooka eya January 1985, ekibinja ekyokubiri kyasitula mu wiiki ey'okusatu eya January 1985 nga kino kyalimu; Sheikh Idrisa Habiibu Luswabi, Sheikh Ismail Nkata, Sheikh Sulaiman Wakabibi, Sheikh Hassan Mutagubya , Sheikh Adbul Qadir ne Sheikh Ibrahim Hassan Kirya.

MU GETWAKAFUNA; Omugenzi Sheikh Hassan Kirya abadde asimbye emmotoka e Bweyogerere nga ku ttaawo ng'avuddemu aliko...

Posted by Bukedde on Tuesday, June 30, 2015

Muto wa Kirya, Sheikh Mahamoud Hassan Musisi Ntambi ye yasembayo okugenda e Khartoum nga ye yasitula mu wiiki eyasembayo mu January 1985.

Ensonda zaategezezza nti , mukulu wa Sheikh Kirya, Issa Galabuzi eyali akola ku kitebe kya South mu Kampala mu myaka gya 1980 ye yafunira Kirya ne muto we Ntambi sikaala okugenda e Sudan okusoma Siniya ng'eno bwe bakuguka ne mu by'eddiini.

E Sudan, kigambibwa nti Shiekh Kirya yamalayo emyaka ena n'adda mu ggwanga ng'amaliriza Siniya eyokuna n'okusoma obwa Sseeka.

Bwe yakomawo mu Uganda n'atandika okukolera mu kitongole kya Libya eky'ebyeddiini mu Kampala ng'omu ku basomesa eddiini mu kitongole ekya Da'wa.


 

AGAKAGWAWO; Omwogezi w'ekiwayi ky'Abasiraamu eky'e Kibuli, Sheikh Hassan Kirya akubiddwa amasasi mu bitundu by'e Bweyogerere nafiirawo. Kitalo. Tujja kukutuusaako ebisingawo nga bwetunabifuna #Bukedde

Posted by Bukedde on Tuesday, June 30, 2015

Sheikh Kirya y''aani?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...