TOP

Omuvubuka akubiddwa omusumaali mu mutwe; apooca

Added 10th July 2015

ABANTU abatannamanyika basooberedde omuvubuka mu nnyumba ne bamukomerera omusumaali ogw''akatiko mu mutwe nga kati apooca mu ddwaaliro e Mulago.

Bya Deborah Nanfuka

ABANTU abatannamanyika basooberedde omuvubuka mu nnyumba ne bamukomerera omusumaali ogw'akatiko mu mutwe nga kati apooca mu ddwaaliro e Mulago.

Ismail Yahaya 30, omutuuze we Ntinda Stretcher zooni kigambibwa nti abadde asula ne muganda we mu nnyumba.

Yabadde ayoza ngoye n'azivaako nagwa ekigwo oluvannyuma yasituseewo n'ayingira mu nnyumba ne yeebaka ku ssaawa musanvu ez'emisana.

Florence Nakisozi nnyina amuzaala agamba nti muganda we yazeeyo mu kisenge okumulambukalo yasanze ebimba ejjovu mu kamwa ng'akanudde n’amaaso ne bayita muliranwa waabwe yagenze okumusitula bamutwale mu ddwaaliro ne balaba omusumaali mu mutwe.

Nakisozi agamba nti bateebereza okuba nti yandiba nga ye yagwefumise oluvannyuma lw'okutabuka omutwe.

Ensonga zabadde tezinategeezebwa poliisi kuba bonna baabadde bapapye kusooka kutaasa bulamu.

Eky'omutawaana Yahaya yatwaliddwa mu sweeta okumulongosaamu omusumaali ne bamuzza nga kati ajjanjabibwa ku waadi 3B e Mulago nga kigambibwa nti abasawo baatidde nti bandiguggyamu omusaayi ne guyiika mu bwongo.

Abasawo babadde bakyanoonyereza ku ngeri y'okuguggyamu.

 


Omuvubuka akubiddwa omusumaali mu mutwe; apooca

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Obwongo bw'abaana abadda ku...

OLUVANNYUMA lwa Gavumenti okulangirira nti abayizi abamu baddyo okusoma nga October 15, 2020, abazadde baatandise...

Abaana nga balaba ttivvi.

Engeri omuzadde gy'olambika...

MU mbeera eno ng’abayizi basomera ku ttivvi kitegeeza nti ebbanga abaana lye bamala ku ttivvi lyeyongera. Ng’oggyeeko...

VAR y'asinga amazima

Batunuulira nnyo ebisobyo mu ntabwe omuva okugaba peneti oba okugiggyawo, okugiddamu nga waliwo ekisobyo ekikoleddwa...

Dr. Donald Rukare (ku kkono) ne David Katende.

'Gavt. terina ssente zikebe...

ABAKUNGU b'ebibiina by'emizannyo bannyogogedde e Lugogo, Gavumenti bwe yakabatemye nti tejja kubawa ssente zikebeza...

Moses Magogo, Pulezidenti wa FUFA

FUFA eweze ttiimu okutendek...

FUFA eweze ttiimu zonna okutendekebwa n’okuzannya omupiira kagube gwa mukwano. Ekiragiro kino kikola okutuusa nga...