TOP

Minisita Byandala ayimbuddwa

Added 3rd August 2015

MINISITA Abraham Byandala ayimbuddwa okuva mu kkomera e Luzira gy’amaze ennaku 6 oluvannyuma lw’okusindikibwayo ku misango egyekuusa ku mivuyo gy’oluguudo lwa Mukono - Katosi.

Bya ALICE NAMUTEBI

MINISITA Abraham Byandala  ayimbuddwa okuva mu kkomera e Luzira gy’amaze ennaku 6 oluvannyuma lw’okusindikibwayo ku misango egyekuusa ku mivuyo  gy’oluguudo lwa Mukono - Katosi.

Byandala ng’ono ye yali minisita w’enguudo yatereddwaako amateeka amakakali omuli okusasula ssente obukadde 10 nga za mu buliwo ssaako n’okuleka ekitambuliso kye [ pass port]  mu kkooti.

Byandala ng’ali ne banne bwe bavunaanibwa baaleeteddwa ku kkooti y'abalyake n’abakenuzi e Kololo mu bbaasi y’ekitongole ky’amakomera ku ssaawa 2:45 ez’okumakya ne batwalibwa mu kaduukulu gye baggyiddwa ku ssaawa 9 ne bagenda mu kkooti.

Byandala yabadde alina okukomezebwawo ku kkooti nga August 11 2015 oluvannyuma lw’okuggulwako emisango gy’okukozeesa obubi ofiisi ye  ku Lw’okubiri lwa wiiki ewedde kyokka kino tekyasobose omulamuzi Paul Mugamba bwe yayisizza ekiragiro ekirala nga kiragira ab'e Luzira okumukomyawo ku Mmande.

Omulamuiz Julius Borore ye yasooka okuwulira omusango gwa Byandala n'agaana okuwulira okusaba kwe okw'okweyimirira bannamateeka be kwe kuwandiikira omulamuzi Paul Mugamba akulira kkooti y'abalyake n’abakenuzi ng’ono ye yalagidde omulamuzi Borore awulire okusaba kwe .

Byandala yaleese abantu 3 okwabadde omubaka w'e Kabula, James Kakooza, Joseph Kabanda ne Dr. Mbonye nga bano baalagiddwa okusasula obukadde 100 ezitali za mubuliwo.

Byandala olwayimbuddwa abawagizi be baasanyuse nga bamukulisa ekkomera ne bamutwala mu mmotoka ye ne boolekera e Luweero gye baakoledde akabaga okumukulisa Luzira.

Byandala yagambye nti ensonga ezimusibisizza tazirabamu nsa era ekiseera kyonna amazima gajja kweyoleka gamanyibwe.

Abavunaanibwa ne Byandala okuli ying. Berunado Ssebbugga, Joe Mugooma ne Isaac Mugote nabo beeyimiriddwa ku bukadde 10 ez’omu buliwo wabula ye Apolo Senkeeto ng’ono ye yeyanjula mu b'ekitongole kya UNRA ng’omu ku bakulu ba kkampuni ya Etutaw eyaweebwa obuwumbi 24 okukola oluguudo lwa Mukono Katosi,  ku bukadde 10 bwe yalagiddwa okusasula omulamuzi Julius Borore yagasseeko n’okumulagira okuwaayo ekyapa ekitakka wansi wa bukadde 500.

Omuwaabi wa gavumenti yabadde asabye omulamuzi Borore awe Byandala ne banne obukwakkulizo obwamanyi bw'aba abeyimirirwe omuli obutaddamu kufuluma ggwanga okutuusa ng'omusango guwedde saako n’okuva mu bifo byabwe wabula omulamuzi Borore n'asalawo basasule obukadde 10.

Byandala nga kati ye minisita avunaanyizibwa ku guno na guli avunaanibwa emisango ena nga gyonna gyekuusa ku kukola oluguudo lwa Mukono - Katosi omuli okukozeesa obubi ofiisi ye, okujeemera ebiragiro bya kaliisoliiso saako n’okulagira aba UNRA  okukolagana ne kkampuni ya Eutaw ekola oluguudo luno kyokka nga kaliisoliiso wa gavumenti yali akigaanye.

 

 

Byandala ayimbuddwa ku bukadde 100

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sosimu Twesiga

Abalima ebikozesebwa mu kus...

ABALIMA ebikozesebwa mu kusogola omwenge balaajanidde gavumenti ne bagisaba okuddiriza ku mateeka g'omuggalo ku...

Rtd. Sgt. Kyazike

Owa UPDF gwe baafera asobeddwa

EYALI omuserikale w'eggye lya UPDF abafere baamulimba okumuguza enju oluvannyuma ne bamwefuulira ne bamukuba kalifoomu...

Museveni

Obuwumbi 11 ez'abasomesa mmye

ABASOMESA balojja ennaku gye bayitamu oluvannyuma lwa ssente pulezdienti ze yawa SACCO yaabwe bwe zabbibwa ne bamusaba...

Aba bodaboda ku siteegi y’e Makerere nga bajjuza obukonge bwa Gabula Ssekukkulu, Ku ddyo ye Donozio Ssempeebwa ssentebe waabwe.

Bukedde bw'agabula tewali a...

ABAVUZI ba bodaboda nabo beegasse ku bantu abalala okukunga bannaabwe okwetaba mu kujjuza akakonge ka Gabula Ssekukkulu...

Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo gw'okukuyega abakulembeze mu Mbale.

Ab'e Mbale basabye Museveni...

MUSEVENI bwe yabadde mu Bugisu baamubuulidde ebintu ebikulu bye baagala akole olwo basobole okumuyiira obululu...