TOP

Ebya 'Regional Tier' Gavt. ebigaanyi

Added 4th August 2015

GAVUMENTI eggye enta mu by’okutondawo gavumenti z’ebitundu mu nkola ya ‘regional tier’ ng’egamba nti terina ssente zaakubiyimirizaawo.

Bya MUWANGA KAKOOZA

GAVUMENTI eggye enta mu by’okutondawo gavumenti z’ebitundu mu nkola ya ‘regional tier’ ng’egamba nti terina ssente zaakubiyimirizaawo.

Buganda  kye kimu ku bitundu ebyettanira enfuga ya gavumenti eya wakati okugiwa ku buyinza yeekolere ku nsonga zaayo ng'eyita mu ‘Federo’.

Gavumenti yali egiwadde enkola ya ‘regional tier’ gy’egamba nti yeefananyirizzaako ne ‘Federo’ era ng’essiddwa ne mu konsityusoni kyokka Buganda n’egigaana ng’ewakanya akakwakkulizo k’abantu bonna okukuba akalulu nga balonda Katikkiro.

Ng’ayogera mu lukung’aana lwa bannamawulire olwayitidwa okulangirira olunaku lw’okukuza enkola y’okuzza obuyinza mu bantu (desentulolayizesoni) olunaakuzibwa August 10 e Mbarara , minisita Mwesige yagambye nti ebya ‘regional tier’ byassibwa ku bbali nga gavumenti terina ssente za kubissa mu nkola.

‘’Ne ku disitulikiti 111 eziriwo tetugenda kwongerako okuggyako ng’ebyenfuna bimaze kutereera,’’ Mwesige eyabadde n’abakulembeze ba gavumenti z’ebitundu bwe yagambye. Kyokka yagambye nti enkola ya desentulolayizesoni eyambye nnyo abantu  okufuna obuyinza naddala ng’ebatwalira obukulembeze okumpi ne we bali.

Ne mu palamenti minisita w’oludda oluvuganya owa gavumenti z’ebitundu nga mubaka w’e Busongora South , William Nzoghu , naye yabuuzizza gavumenti lwaki mu nkyukakyuka za Konsityusoni ze yaleeta temwali kya kuzzaawo gavumenti za bitundu .

Wabula nnampala wa NRM Ruth Nankabirwa yagambye bannamawulire nti ebintu bingi  bikyalina okwekenneenyezebwa ku nsonga ng’ekimu ku byo y'engabana y’obuyinza wakati w’abakulembeze ku disitulikiti n’ebitundu ebyogerwako.

Ebya ''Regional Tier'' Gavt. ebigaanyi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....