TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ali ku gw'okutta muganzi we asindikiddwa mu kkomera e Kirinnya

Ali ku gw'okutta muganzi we asindikiddwa mu kkomera e Kirinnya

Added 6th August 2015

OMUYIZI abadde asoma obwadokita ku ttendekero ly’e Makerere agambibwa okutta muganzi we, Desire Mirembe asindikiddwa mu kkomera e Kirinya mu kibuga Jinja okutuusa nga August 18.

OMUYIZI abadde asoma obwadokita ku ttendekero ly’e Makerere agambibwa okutta muganzi we, Desire Mirembe asindikiddwa mu kkomera e Kirinya mu kibuga Jinja okutuusa nga August 18.

Omulamuzi ow’eddaala erisooka e Jinja, Allan Gakyalo ye yasindise Andrew Kirabo ku limanda oluvannyuma lw’okulabikako mu kkooti ye etali ya lukale wiiki ewedde.

Wabula bazadde b’omugenzi, Emmanuel Musoke era nga ye ssentebe wa disitulikiti y’e Kalungu ne nnyina Cindy Nalamula baalaze obutali bumativu engeri kkooti n’ekitongole ekiramuzi gye kyakuttemu omusango guno.
Frank Gashumba eyakulembedde abalwanirizi b’eddembe baakedde ku kkooti nga bakutte ebipande ebiriko ebigambo ebisaba wabeerewo obwenkanya n’amazima mu musango guno.

Gashumba yagambye nti baayisiddwa bubi nti omusango bwe guti ogwa naggomola bagufudde gwa kyama.
Omuduumizi wa poliisi e Jinja, Apollo Kateeba yatuuse ku kkooti n’akkakkanya embeera. Mirembe yattibwa nga July 14 ku kyalo Kibuubu e Lugazi

 

Ali ku gw’okutta muganzi we asindikiddwa mu kkomera e Kirinnya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo