TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kasole lwanga ategese embaga ey''ekyama n''omukazi eyagattibwako edda empeta

Kasole lwanga ategese embaga ey''ekyama n''omukazi eyagattibwako edda empeta

Added 23rd August 2015

EYALI nnannyini ssomero lya Kampala Parents, Bwerere Kasole Lwanga asazeewo okugattibwa ne mukyalawe Miriam Nakibirige Nalongo ewa Ddiisi mu kyama.


Bya ROGERS KIBIRIGE

EYALI nnannyini ssomero lya Kampala Parents, Bwerere Kasole Lwanga asazeewo okugattibwa ne mukyalawe Miriam Nakibirige Nalongo ewa Ddiisi mu kyama.

Kasole eyaliko omubaka wa Palamenti akiikirira ekitundu kya Buwekula yagenze ew'akulira abakozi ba gavumenti n'emirimu mu disitulikiti y'e Wakiso ne yeewandiisa agattibwe ne mukyalawe Nakibirige.

Omukyala ono gw’ategeka okugattibwa naye ewa Ddiisi baakamala emyaka 42 mu bufumbo nga balina n’abaana basatu, kyokka omukazi yali yagattibwako empeta nga tannasisinkana Kasole naye ne baawukana ne bba ono eyamukuba empeta, akyali omulamu.

Oluvannyuma lw'okutuukiriza emisoso gyonna egyetaagisa, ofiisi y'akulira abakozi mu disitulikiti ya Wakiso yamulanze ku lubaawo lwayo kw’essa ebirango era n'eyita abantu bonna abalina ensonga emulobera okugat¬tibwa ne mukyalawe Nakibirige agituukirire mu bbanga lya nnaku 26.

Kasole bwe yatuukiriddwa mu makaage agasangibwa e Buloba mu ggombolola ya Mumyuka Wakiso mu disitu¬likiti y'e Wakiso ku luguudo lw'e Mityana yakakasizza enteekateeka y'embaga era n'anyonnyola bwati;

“Nawasa mukazi wange eyasooka wabula eby'embi n'anfaako n'oluvannyuma ne nfuna omulala ayitibwa Miriam Nakibirige Nalongo gwe mmaze naye emyaka 42 nga tuzadde n'abaana basatu.

Tumaze ebbanga nga tukuumagana bulungi okutuusa lwe tusazeewo okulongoosa obufumbo bwaffe mu mateeka agafuga eggwanga. Ekyatu¬tutte mu bufumbo bwa Ddiisi, mukyala wange Nakibirige yagattibwa empeta mu Eklezia n'omusajja gwe yayawukana naye ate ng'omusajja oyo akyali mulamu.

Omuntu bw’agattibwa mu Eklezia akuba ekiragaano n’alayira okubeera ne bba oyo bwe bagattiddwa, mu bulungi ne mu bubi okutuusa okufa lwe kulibaawukanya.

Ekirango ekiranga embaga ya Kasole ne Naakibirige ekyatimbiddwa ku disitukiti e Wakiso

Wadde nga baayawukana dda emyaka egisoba mu 42, Eklezia tesobola kub¬agattulula era omu ku bo tasobola kuddamu kugat¬tibwa mu ddiini mpozzi nga munne bwe baagattibwa afudde. Singa mukyala wange abadde yagattibwa Kkanisa ya Uganda n'ayawukana ne bba twandigenze ekkanisa n'etusabira omukisa ne tutandika n'okusembera naye kino tekisoboka mu Klezia,” Kasole bwe yatangaazizza.

Ekiwandiiko ky'akulira abakozi ba gavumenti mu disitulikiti y'e Wakiso ekiranga embaga ya Kasole kyatimbibwa June 30 nga n'ennaku 26 ezaaweebwa omuntu yenna alina ensonga erobera Kasole okufumbiriganwa ne mukyalwe zaggwaako nga July22.

Kasole agamba nti ekikyasibye embaga eno okubaawo, waliwo munywanyiwe ali e Bulaaya alina okubaawo okubassiza omukono ku biwandiiko by'okugattibwa ataasobola kudda mu budde.
Kasole yagambye nti ono w'anaddira wonna embaga yaabwe ejja kugenda mu maaso.

Amaka ga Kasole agasangibwa e Buloba

Omuntu tagattibwa mirundi ebiri – Munnamateeka

Munnamateeka Medard Sseggona agamba nti;
“Omuntu bw’aba yagattibwa mu bufumbo obukkirizibwa mu mateeka g’eggwanga tasobola kuddamu kugattibwa na muntu mulala yenna okuggyako nga kkooti y’emukkirizza oba ng’omuntu gwe yasooka okugattibwa naye afudde.

Kino kitegeeza nti omukazi bw’aba yagattibwa n’omusajja ne baawukana, kimenya mateeka okuddamu n’agattibwa n’omusajja omulala nga bba gwe yasooka okugattibwa naye akyali mulamu. Ebbanga ly’aba amaze ng’ayawukanye ne bba asobola okulitwala mu kkooti ng’emu ku nsonga lwaki obufumbo abubala nga obutakyaliwo.

Okugeza, singa omukazi amala emyaka 40 nga tali na bba asobola ensonga okuzitwala mu kkooti n’ebbanga ly’abeera amaze n’aliraga nga kino kimuyamba ng’omusango gutandise okuwulirwa, kyokka eno ensonga temala. Alina okulaga kkooti ensonga eyamuwaliriza okwawukana nga kubaako n’obujulizi okukakasa by’ayogera. Singa omusango guwulirwa kkooti n’ebakkiriza okwawukana, olwo aba wa ddembe okuddamu okugattibwa n’omusajja omulala awatali kumukuba ku mukono.

 

Kasole lwanga ategese embaga ey''ekyama n''omukazi eyagattibwako edda empeta

More From The Author

Ow

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusango gwa Kibalama gulek...

OMUSANGO gwa Moses Kibalama ogw’obwannanyini bw’ekibiina kya NUP gwakusalwa nga October 16. Kyokka we banaagusalira...

Kibalama

Kibalama ayogedde lwaki yak...

EYALI Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity and Reconciliation Party (NURP) Moses Nkonge Kibalama, agamba nti...

Owa North Korea yejjusizza ...

AMAGYE ga North Korea okutta munnansi wa South Korea gwe baasanze abuuse ensalo ng’ali mu mazzi gaabwe biranze....

Omukungu wa Twaweza ng'annyonnyola

Aba Twaweza bafulumizza ali...

LEERO Mande September 28, 2020 giweze emyaka 15 nga Uganda eyisizza etteeka erikkiriza abantu okufuna amawulire...

Amaka ga Seya Sebaggala

Seya alese omukululo mu byo...

EBYOBUFUZI ebyali bibuutikiddwa abayivu, Seya yabikyusa n’abiyingizaamu n’abantu ba wansi abaali beerabiddwa.