
Bya SAUL WOKULIRA
POLIISI ekubye ttiyaggaasi e Kayunga n’aleka nga Minisita Nantaba afeesa. Kino kyaddiridde abantu okweyiwa ku kitebe kya disitulikiti e Kayunga mu kulonda kwa NRM okwa disitulikiti ne batandika okukola effujjo nga bakasuukirira poliisi n’abalonzi amayinja ssaako okubayiira omusulo.
Omusuubuzi Moses Karangwa Kaliisa yamezze minisita omubeezi ow’Ebyettaka, Aidah Nantaba ku bwassentebe bwa NRM mu disitulikiti y’e Kayunga. Karangwa, eyagugulanako ne Nantaba gye buvuddeko ku nsonga z’ettaka, yafunye obululu 90, ate Nantaba n’afuna 53. Omulala Alex Kasiriivu yafunye 22.
Minisita Nantaba yabadde ayagala okulonda kusazibwemu omulundi ogwokubiri ng’okwasooka bwe kwasazibwamu wabula eyakulidde okulonda okuva ku kitebe kya NRM, Sirian Bagamba n’alagira kugende mu maaso.
Wano minisita we yatandikidde okuwaanyisiganya ebisongovu ne RPC wa Sezibwa, Deo Obura n’abawagizi be ne baagala okucankalanya okulonda ekyavuddeko poliisi okubakubamu ttiyaggaasi n’atwaliramu ne Nantaba.
Oluvannyuma embeera yazze mu nteeko, akalulu ne kakubwa okutuusa ku ssaawa 2:00 ez’ekiro era omuwanguzi n’alangirirwa ku ssaawa 3:00 ez’ekiro ky’Olwokutaano.
Bino byonna okubaawo, Minisita Nantaba yabadde amaze okwekandagga ng’agenze.
Okulonda okwasooka wiiki ewedde kwayiika nga bagamba nti Augustine Tumwine eyali yeesimbyewo ku bwassentebe w’Abaazirwanako teyali mutuufu.
Abalala abaalondeddwa kuliko Eddy Mwanje (omumyuka wa ssentebe), Kizza Mutwalibi (owaamawulire) ng’ono yamezze Hassan Kirunda. Joseph Ouma ye muwandiisi ate Gladys Nakankya yalidde eky’Obuwanika.
Karangwa yebazizza abalonzi olw’okumussaamu obwesige ne bamulonda era n’asuubiza okusakira ekibiina kino obuyambi okuva mu mikwano gye wano mu ggwanga n’ebweru.
Minisita Nantaba bamukubye ttiyaggaasi