
Bya SCOVIA BABIRYE
ABAWAGIZI b'ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) basabiddwa okubeera n'essuubi wamu n'obuvumu ku mbeera eriwo mu kiseera kino.
Bino byayogeddwa pulezidenti w'ekibiina Mugisha Muntu bwe yabadde mu lukiiko ne bannamawulire ku kitebe ky'ekibiina e Najjanankumbi eggulo.
Muntu yasabye abawagizi baabwe obutaggwamu ssuubi kuba bayina obusobozi obumalawo amayengo gonna gebasanze mu myaka ebiri n'ekitundu kuba amaaso gaabwe bagatadde mu kumalawo obwannakyewa obuli mu mu by'obufuzi.
Yayongeddeko nti kati ebirowoozo byonna babitadde ku TDA okulaba nti bavaayo nga bawanguzi okusobola okuleeta enkyukakyuka mu ggwanga.
Muntu yasabye abawagizi obutabuguumirira wabula babe n'obuvumu wamu n'okukuuma empisa wadde nga waliwo ensobi kuba mu nsobi mwe muva ekyokuyiga.
Muntu asabye aba FDC okunywerera ku kibiina