
Bya SCOVIA BABIRYE
EKIBIINA kya Forum for Democratic Change (FDC) birangidde ssenkaggale wa DP, Nobert Mao kye bayise enkwe n'okulya mu lulime ne mu luzise.
Bino byayogeddwa omwogezi w’ekibiina, Ibrahim Ssemujju Nganda mu lukung'aana lwa bannamawulire olwatudde ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi ku Mmande.
Ssemujju yategeezezza nti bakizudde nga kyabulabe okwesembereza abamu ku bammemba ba TDA abajjudde obukuusa n'agamba nti nga FDC, tebaggya kukolagana n’abantu ba nkwe nga Mao era beetegefu okwabulira omukago gwa TDA singa Mao takomya kwefuula kampeyini maneja wa Mbabazi.
Ssemujju yalaze empapula abeegattira mu mukago gwa TDA ze baataddeko emikono okulaga nti baalemereddwa okukkaanya okulonda omuntu ow'awamu anaabakwatira bendera mu kulonda kwa 2016 n’alangirira nti enkya bagenda kutuuza olukiiko olunaasalawo ekiddako ku bya TDA.
Mu ngeri y’emu Ssemujju yategeezezza nti ng’ekibiina tebakkiririza mu nkola y’akakiiko k’ebyokulonda gye baataddewo ey’okuggyako obufaananyi ku nkalala z’okulonda.
Aba FDC bavumiridde Mao