Bya Eria Luyimbazi
OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura alabudde abatonzeewo obubinja n’ekigenderwa eky’okutabangula emirembe n’okutaataaganya ebiseera by’okulonda nti bagenda kukolwako.
Bino yabyogeredde mu nkambi y’amagye eya Gaddafi e Jinja ku Lwokusatu bwe yabadde afulumya abapoliisi 354 abaatendekeddwa mu kuba sabbaawa omuli okukuba ku nnyama, okulwanyisa obutujju ne tayikondo n’agamba nti waliwo abatonzewo obubinja bwa bakanyama nga bagamba nti bwa kukuuma mirembe wabula nga kyazuuliddwa nti bulimu bamenyi b’amateeka.
“Njagala okulabula bonna abatonzeewo obubinja bwa bakanyama n’abalina ekirowoozoky’okubuteekawo nti poliisi tegenda kubukkiriza kuba bumenya mateeka kuba byonna ebyekuusa ku kukuuma emirembe bivunaanyizibwako poliisi n’ebitongole by’okwerinda ebirala era abanaabulemerako bajja kukolwako,” Kayihura bwe yategeezezza.
Yagambye nti abatandikawo obubinja buno bagamba nti bugenda kukuuma mirembe mu kulonda kyokka nga kyazuuliddwa nga bulimu bamenyi b’amateeka ng’akabinja ka B-13 e Luweero, Kikankane, Soloda n’obulala nga kino kye kyabazzisaayo aba poliisi okuddamu okutendekebwa okubwahhanga.
Ate akulira ekitongole ekitendeka aba poliisi, Andrew Felix Kaweesi, yagambye nti obutafuna kutendekebwa kivuddeko aba poliisi okukola ensobi ze bandibadde beewala so ng’abamu bali mu ofiisi ez’amaanyi nga kino bagenda kukimalawo.
Kayihura alabudde obubinja bwa bakanyama obutondeddwaawo