TOP

Eby'obugagga bitabudde bamulekwa e Masaka

Added 2nd October 2015

BAMULEKWA batabukidde munnaabwe gwe balumirizza okweyita omusika wa kitaabwe, ng’akozesa ekiraamo ekitaliiko mukono gwa mugenzi ne yeekomya ebyobugagga byabwe.

 Bya JOHNBOSCO SSERUUWU

BAMULEKWA batabukidde munnaabwe gwe balumirizza okweyita omusika wa kitaabwe, ng’akozesa ekiraamo ekitaliiko mukono gwa mugenzi ne yeekomya ebyobugagga byabwe.

Mu ngeri y’emu yagaanyi n’okugondera ekiragiro ekyamuweereddwa kkooti, ng’emulagira okuva mu byobugagga ebyo.

Omulamuzi Mary Ikit owa kkooti enkulu e Masaka, yasazeewo nti Abu Ssentongo ekiraamo kye yakozesa okugoba banne awaka n’okwezza ebyobugagga tekyakolebwa kitaawe Hajji Kassim Kiggundu eyafa mu 1988.

Abooluganda 16, nga bakulembeddwamu Asuman Ssentongo be baaloopa Lukwago, nga kkooti olwamaze okuwa ensalawo yaayo ne bagenda awaka nga baagala Lukwago abaviire.

Olutalo wanno we lwatandikidde nga mulimu n’okuwanyisiganya ebisongovu nga waliwo abazzukulu abawagira Lukwago abaabadde balwana okulaba nga tavaawo.

Akulira poliisi y’e Lukaya, Samson Obicho yatuuse mu maka gano e Kisiwuula, Bukulula mu Kalungu okukkakkanya embeera.

Abaana bagamba nti kitaawe yamala emyaka ebiri nga mulwade nga Lukwago yakozesa akaseera kano okukyusa ekiraamo, ekituufu kye yakola n’akisuula mu kaabuyonjo n’assaawo ekikye nga kimulaga nti musika.

Ensonga poliisi yaziyingiddemu okulaba engeri gye bagenda okussa mu nkola ekiragiro kya kkooti.

Eby''obugagga bitabudde bamulekwa e Masaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ebimuli bya Hibiscus.

Abasuubula Hibiscus bayingi...

ENNAKU zino abantu bafaayo nnyo ku bulamu bwabwe nga kino kiyinza okuba nga kivudde ku ngeri ensi gy'ekulaakulanye...

▶️ Omugagga Lwasa: Mukazi w...

OMUGAGGA Emmanuel Lwasa ow'e Masaka w'osomera bino nga mugole. Ku Lwomukaaga yabitaddemu engatto ng'awerekerwako...

Abatuuze nga batunuulira awaabadde ettemu.

Abafumbo basangiddwa batemu...

POLIISI y'e Nakaseke enoonyereza engeri abaagalana ku kyalo Magoma mu ggombolola y'e Kikamulo mu disitulikiti y'e...

Omugenzi Bob Kasango

Kiki ekyasse munnamateeka w...

ENFA ya munnamateeka w'omu Kampala, Bob Kasango, erese ebibuuzo mu ba ffamire n'ababadde bamuvunaana okulya ensimbi...

Minisita Kiyimba, Noah Kiyimba ng’akwasa omuyizi Andrew Maseruka eyasinze banne ku ttendekero lya Universal Institute Of Graphics & Technology Ku Sharing Hall e Nsambya.

Minisita Kiyimba akubirizza...

ABAYIZI 110 batikkiddwa mu masomo ga Dipuloma ne satifikeeti mu ttendekero lya Universal Institute of Graphics...