TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Byandala ayitiddwa akakiiko ka UNRA akunyizibwe

Minisita Byandala ayitiddwa akakiiko ka UNRA akunyizibwe

Added 12th October 2015

AKAKIIKO akaateekebwayo Pulezidenti Museveni okunoonyereza ku buli bw'enguzi n’emivuyo egyenjawulo egiri mu kitongole ky’enguudo kayise minisita Abraham Byandala annyonnyole ku biragiro ebyenjawulo bye yawa bwe yali akyali minisita w’enguudo ebyaviirako gavumenti okufiirwa ssente ezisoba mu buwum

 Bya ALICE NAMUTEBI

AKAKIIKO akaateekebwayo Pulezidenti Museveni okunoonyereza ku buli bw'enguzi n’emivuyo egyenjawulo egiri mu kitongole ky’enguudo kayise minisita Abraham Byandala annyonnyole ku biragiro ebyenjawulo bye yawa bwe yali akyali minisita w’enguudo ebyaviirako gavumenti okufiirwa ssente ezisoba  mu buwumbi 90.

Byandala asuubirwa okweyanjula enkya ku Lwokubiri mu kakiiko kano akakulemberwa omulamuzi Catherine Bamugemereire ategeeze akakiiko obuvunaanyizibwa bwe we bukoma nga minisita n’okunnyonnyola ebiragiro bye yawa mu kukola oluguudo lwa Mbale Soroti olwamalawo obuwumbi 108.

Byandala okuyitibwa kiddiridde obujulizi okuleetebwa mu kakiiko nga bulaga nga Byandala bye yalagira ab’ekitongole ky’enguudo okuwa kkampuni ya DOT Services kontulakiti y’okukola oluguudo lwa Mbale - Soroti yadde nga kyali kimaze okuzuulibwa nti aba DOT Services tebaalina busobozi bukola luguudo omwali obutaba na byuma bimala, bakozi ate nga n’ebyuma ebitono ebyaliwo byali bifu nnyo.

Yadde nga aba DOT Services tebaalina bisaanyizo bikola luguudo, baagattako n’okusaba UNRA ebaliyirire ssente obuwumbi 30 zino nga zaali za biseera bye baamala ku 'sayiti' kyokka nga UNRA ebagamba okulindako okutandika okukola oluguudo.

Akakiiko okuyita Byandala abadde akyawerennemba n’emisango emirala gy’okukozesa obubi ofiisi ye bwe yakkiriza ekitongole ky’enguudo okukola kontulakiti ne kkampuni ey’empewo emanyiddwa nga Etauw mu kukola oluguudo lwa Mukono - Katosi, ekyaviirako gavumenti okufiirwa obuwumbi obusoba mu 24.

Bino we bijjidde ng'akakiiko kaakawaayo lipooti yaako ey’ekiseera omuli bye kaakazuula bukyanga katandika kunoonyereza mu mwezi gwa July kyokka nga ebyakazuulwa bikyakuumiddwa nga kyama.

Minisita Byandala ayitiddwa akakiiko ka UNRA akunyizibwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Judith ne Rev. Tugumehabwe lwe baagattibwa mu bufumbo Obutukuvu.

Obwenzi bwe bwatabula Judit...

Kigambibwa nti ekimu ku byatabula Judith ne Christopher ye mwawule okufuna oluvuuvuumo ku by'obwenzi bwa mukazi...

Ntagali ne Judith

Eyasudde Ntagali abadde n'a...

OMUKAZI eyasudde Dr. Stanley Ntagali mu bizibu ayogerwako ng'atali mwangu. Abadde acanga abasajja nga kigambibwa...

Amaka ga Bisaka agali ku kyalo Kapyemi.

Obugagga bwa Bisaka buwunii...

OBUGAGGA Bisaka bw'alese obuli mu buwumbi buwuniikirizza abantu abagamba nti, tabadde na mulimu mutongole gw'aggyamu...

Abantu nga baaniriza Pulezidenti e Busega.

Abawagizi ba pulezidenti Mu...

Abawagizi ba pulezidenti Museveni wano mu Kampala bakwatiridde ku makubo okuva e Busega okumwaniriza nga bamukulisa...

Honarebo Ssegirinya ng'alumya abayaaye.

Ssegirinya wansuubiza okunf...

NKUBAKYEYO Goolixy Nalumansi eyali muninkini w'omubaka omulonde owa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya akiise ensingo....