TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni asuubizza okuyamba abasuubuzi n'abalimi okulinnyisa omutindo

Museveni asuubizza okuyamba abasuubuzi n'abalimi okulinnyisa omutindo

Added 15th October 2015

PULEZIDENTI Museveni agambye nti agenda kufuba okuyamba abasuubuzi b’engoye enkadde batandike okutunda engoye empya ezikolebwa kuno mu kaweefube gw’aliko ow’okulwanyisa ebbula ly’emirimu ng’ayita mu kuzzaawo amakolero.

 Bya Steven Musoke

PULEZIDENTI Museveni agambye nti agenda kufuba okuyamba abasuubuzi b’engoye enkadde batandike okutunda engoye empya ezikolebwa kuno mu kaweefube gw’aliko ow’okulwanyisa ebbula ly’emirimu ng’ayita mu kuzzaawo amakolero.

“Nja kuteesa n’abasuubula emivumbatulabe engeri gye nnyinza okubayamba nga mbawaayo obusente obutono n’okubafunira obwa ajenti bw’okutunda engoye empya ezikolebwa wano,” Museveni bwe yategeezezza.

Yabadde ku mukolo e Kololo, abawagizi beabeegattira mu kibiina Weebale Museveni, kwe baamunaanikidde omudaali eggulo nga bamusiima by’akoledde eggwanga.

Omuluhhamya w’ekibiina kino, Tezikuba Ssajjabbi ye yasoose okwanjulira Pulezidenti lipoota yaabwe n’ategeeza nti ku bintu ebingi Pulezidenti by’akoledde eggwanga bakirabye nga kya mugaso okumusiima, era nga ku mukolo guno omu ku bakozi ba BUKEDDE Fa Ma, Kayibanda ye yabadde kalabaalaba.

Museveni yagambye nti Bannayuganda bafiirizibwa nnyo mu kutunda ebintu byaffe naddala ebirime nga kasooli nga tebyongeddwaako mutindo, n’awera okwongera ku byuma ebisa kasooli mu buli kitundu n’okutandikawo amasomero g’ebyemikono.

“Mu Kampala mu buli divizoni hhenda kuzimbayo essomero ly’ebyemikono ne mu byalo ntandikire ku mutendera gwa disitulikiti, essaza oluvannyuma nzire ku buli ggombolola,” Museveni bwe yategeezezza.

Yasabye abantu okwegendereza nga balonda bamuleetere abo bokka abawagira enteekateeka za Gavumenti ate n’abantu abalina ebizibu ebitono ebyetaagisa obusente obutono, abakulembeze babazuule olwo bategeeze Gavumenti ebawe ssente.

Yayiseeyise mu bintu enfaafa Gavumenti ya NRM by’ekoze okuli enguudo, amasomero n’ebirala n’asuubiza okwongera ku bungi bw’amasannyalaze kiyambeko mu kutumbula amakolero.

Museveni asuubizza okuyamba abasuubuzi n’abalimi okulinnyisa omutindo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...

Magogo (ku ddyo) ne Mbidde ku mukolo ogumu.

Magogo okusigala mu ntebe y...

PULEZIDENTI wa FUFA, Moses Magogo oluvannyuma lw'okuwangula akalulu k'omubaka wa Palamenti (Budiope East), asaanye...

Abazannyi ba Rugby Cranes, nga beeriga ne ttiimu ya Zimbabwe e Lugogo.

Aba rugby beesika emiwula l...

Bya SILVANO KIBUUKA Rugby Cranes etandise kaweeefube w'okulaba nga Uganda evuganya mu mizannyo gya Olympics omulundi...

Omuddo gwa Kafumbe nga bwe gufaanana.

Omuddo gwa kafumbe gugoba o...

ABAANA bwe bagenda bakula ne baweza emyaka nga 13 bafuna olusu abangi lwe bamanyi nga kaabuvubuka. Omwana ne bw'aba...

Omusumba Kisitu.

Omusumba w'Abasodookisi any...

Mu bantu abatenda ssennyiga omukambwe mwe muli Omusumba w'Abasodookisi Silvestros Kisitu atwala kitundu ky'e Gulu...