TOP

Poliisi gwe yakutte asangiddwa afudde

Added 17th October 2015

BAZADDE b’omwana poliisi gwe yakwatidde mu Nabisaalu zooni e Makindye, balumirizza poliisi okubeera ng’erina ky’emanyi ku kufa kw’omwana waabwe.

Bya MUSASI WAFFE

BAZADDE b’omwana poliisi gwe yakwatidde mu Nabisaalu zooni e Makindye, balumirizza poliisi okubeera ng’erina ky’emanyi ku kufa kw’omwana waabwe.

Meddie Kiggundu 22, abadde omusuubuzi w’engatto mu Owino, yasangiddwa mu ddwaaliro e Mulago ng’afudde oluvannyuma
lw’abooluganda okumunoonya ku buli poliisi nga tebamulaba.

Yudaya Ssali nga ye maama wa Kiggundu yategeezezza nti poliisi yali eyitawo ku Lwokubiri ku ssaawa 10.00 ez’akawugezi n’ekwata mutabani we, ne bamutwala ku poliisi y’e Nabisaalu.

“Ng’omuzadde nawondedde okulaba ekituuse ku mutabani wange , kyokka bwenatuuse ku poliisi y’e Nabisaalu abaserikale nabo baabadde baagala kunkwatta ne bannaange be nabadde nabo era ne bangabo ku poliisi”, bwe yategeezezza.

Ssali yagambye nti abaserikale bwe baamugoba yasalawo okugenda ewuwe era enkeera ne bagenda ku poliisi y’e Nabisaalu ne bba Abudalatif Ssali , ne babagamba nti mutabani waabwe yabadde atwaliddwa ku poliisi e Katwe.

Baagenze ku poliisi y’e Katwe kyokka abaserikale bwe baakebedde mu kitabo omuwandiikibwa amannya g’abantu ababeera bakwatiddwa ng’erinnya lye teririimu. Olwobaatusindise ku poliisi ya CPS, kyokka nga nayo taliiyo.

Amagezi gaatwesibye ne wabaawo eyatugambye nti tutandike okunoonya mu malwaliro nga twasookedde Mulago nga
gyetwamusanze ng’afudde.

“Natabuse kyokka n’enzirayo ku poliisi y’e Nabisaalu eyakutte omwana wange ne mbabuuza ekibaddewo nga tebalina kyebannyonnyola kimatiza”

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’e miriraano, Patrick Onyago yategeezezza nti Kiggundu abadde muvubuka ow’omutawaana mu kitundu nga yeegatta kuba Kifeesi Crew nga babadde baludde nga bamunoonya.

Bwe yakwatiddwa yasangiddwa n’essimu eyabadde enzibe era abantu baamukuba nga poliisi ye yamutaasa n’emutwala mu ddwaaliro e Mulago gye yafiiridde. Yawakanyizza abagamba nti yafiiridde ku poliisi kubanga baamutwala butereevu e Mulago.

 

Poliisi gwe yakutte asangiddwa afudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...