TOP

Akase nnamukadde w'emyaka 90 akaboozi

Added 4th January 2016

Omuvubuka kaggwensonyi e Mpigi yingiridde nnamukadde w'emyaka 90 n'amukaka akaboozi

 Kalynago eyasobezza ku nnamukadde w'emyaka 90

Kalynago eyasobezza ku nnamukadde w'emyaka 90

POLIISI y’e Kanoni mu Gomba ekutte omuvubuka kaggwensonhyo  eyayingiridde nnamukadde w’emyaka 90 n’amusobyako.

                                                                                                                            

Abooluganda lwa nnamukadde ono (amannya gasirikiddwa), omutuuze w’e Lusenke mu ggombolola y’e Kanini tawuni kanso be baasanze Habert  Kalyango, 25 ,nga yeebase mu buliri bwa Namutebi oluvannyuma  lw’okumutuga n’amusobyako.

Nnamukadde  ategeezeza poliisi nti Kalyango yamuvumbagatidde ng’afulumyeko ebweru okunonayo bbaketi  gye yabadde yeerabiddeyo bwa’tyo n’amutuga ng’amusaba ssente wabula  bwe yamugambye nti talina ssente n’amugamba nti agenda kumusobyako bwe yagezezzaako okuba enduulu n’amukuba  ebikonde ku mumwa okutuusa bwe yamugonzezza n’amusobyako.

Kyalyango okukwatibwa yasangiddwa ng’otulo twamutwalidde mu buliri  bwa Nnamukadde olw’ettamiiro n’atwalibwa ku poliisi y’e Kanoni gy’akyaggaliddwa.

Kalyango bino abyegaanye n’agambi nti ekyamututte ewa Namutebi  yabadde agenze kumulimirako ku ssaawa nga 11:00 ez’okumakya g’olwa Ssande  wabula bwe yaluddewo okumuwa enkumbi n’awujjaalirako  mu buliri bwe mwe baamusanze okumukwata.

Akulira okunoonyereza ku misango e Gomba, Doreen Kaakyo ategeezeza  nti Kalyango alabika yabadde atamidde era bwe yamaze okusobya ku Nnamukadde ono otulo ne tumutwalira mu buliri bwe era nti agguddwaako  omusango gw’okusobya ku muntu ku fayiro nnamba CRB; 005/2016 nga  waakutwalibwe mu kkooti avunaanibwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....