
Museveni ng’atuuka mu kibuga ky’e Rubare mu ssaza lya Rushenyi e Ntungamo.
PULEZIDENTI Yoweri Museveni, eyeesimbyewo ku kaadi ya NRM okudda mu ntebe
y’Obwapulezidenti mu kulonda okujja asabye abawagizi ba muvumenti okwewala enjawukana ez’obuntu, wabula bakolerere okukulaakulana kw’ekibiina kyabwe kuba y’engeri yokka eneebayamba nabo okukulaakulana.
Bino Museveni yabyogeredde mu lukung'aana lwe yakubye mu kibuga Rubare mu ssaza ly’e Rushenyi mu disitulikiti y’e Ntungamo.
Yasabye abakulembeze mu NRM okwerabira bye baayitamu mu kamyufu n’agamba nti NRM nnene ate y’amaanyi noolwekyo okusigala mu kifo ky’erimu, bammemba balina kubeera bumu.
“Njagala okuwa amagezi abakulembeze nti ne bw’oba wanyiiga olw’ebyava mu kamyufu, temwawulayawula mu bannakibiina. Muvumenti eringa manvuuli, ffenna mwe tusaanye okweggama, ekitegeeza okubeera obumu,” Museveni bwe yategeezezza abawagizi abangi abaamwanirizza ng’ali ne mukyala we Janet Kataha Museveni.
N’agattako nti, “nange waliwo lwe nfunye abannyiiza naye amaanyi gali mu kusirika ne nsigala nga ngoba ekituufu. Temwerabira, Katonda amanyi abeetoowaza era abasasula.”
Museveni yasabye Bannayuganda bamwongere ekisanja kubanga emyaka etaano egijja agenda kulwanyisa obwavu ng’ateekawo ssente mu bajeti ezinaamalawo ekizibu kino.
Yasuubizza ssente okuziyisa mu NAADS, mu bubbanka obutono obuwola abantu ssente ku magoba amatono, okuziyisa mu bibiina by’abavubuka n’abakyala n’okussaawo
ensawo eri abayiiya ebisobola okugaggawaza Bannayuganda.
Yazzeemu n’alabula abakuba abawagizi be era n’agamba nti abawagizi ba Mbabazi abaakuba aba NRM bagenda kuvunaanibwa.