
Abawagizi ba Besigye nga bamuwa ssente e Moroto zimuyambe ku mafuta.
Dr. Col. Kiiza Besigye agambye nti tajja kwetaba mu kukubaganya birowoozo kwa wamu okw’abavuganya ku bwapulezidenti okunaaba ku ttivvi nga January 15, 2016 singa Pulezidenti Museveni taalubeemu.
Besigye akutte bendera ya FDC yagambye nti bulijjo yeesunga okusisinkana Pulezidenti Museveni bagasimbagane ng’ensi yonna eraba. “Naye Museveni bw’anaddamu okwebulankanya nange sijja kulinnyayo.”
Bino Besigye yabyogeredde Moroto ku Ssande mu lukung'aana lw’abaamawulire ku wooteeri ya Tita Palace mu kibuga Moroto.
Yagambye nti okulonda okwaggwa era Pulezidenti Museveni teyalabikako mu kukubaganya ebirowoozo okwa wamu.
Yasabye nti Pulezidenti Museveni bw’aba ‘bbize’ nga January 15, afune olunaku olulala battunke.
Yagambye nti kirabika mu Uganda temuliimu ddembe lya byabufuzi ng’abavuganya gavumenti baweebwa omukisa okusisikana abali mu buyinza, nga bwe kiri mu mawanga amalala.
Besigye yannyonnyodde nti okuva mu 1962, Uganda tefunangako mukulembeze wa ggwanga alondeddwa bantu, nti kyokka ogwo omulembe guweddewo n’asaba Bannayuganda bamuwe obululu abanunule.
Yategeezezza nti kampeyini azikolera mu bugubi olw’enguudo embi ye ze yayise eza ‘NRM kyokka nga mukama waazo Museveni, ye tazitambulirako, akozesa nnyonyi okutuuka mu nkuhhaana ze.
Yagambye nti abantu bagamba nti Besigye enkuhhaana azimala kiro nnyo naye kino kiva ku ngundo embi ng’ate babawa ennaku 90 okutambula disitulikiti 120 ezikola Uganda.
Yeebaziza Bannayuganda bonna abamuwagira nga bamuwa ssente buli gy’ayita nti bamuyambye nnyo okumuwa amafuta era n’ategeeza nti bamwesige ajja kubajjukira ng’atuuse mu bukulembeze ng’akola bye baagala.
Ayogedde ku bya Aine
Bwe yabuuziddwa ku bya Aine eyali omukuumi wa Amama Mbabazi, anoonyezebwa, Besigye yagambye Gavumenti y’emanyi gy’ali.