TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katikkiro awummuza ettoffaali paka ng'okulonda kuwedde

Katikkiro awummuza ettoffaali paka ng'okulonda kuwedde

Added 11th January 2016

Katikkiro ayogedde ku toffaali

 Katikkiro ng'alabula ennyanja ya Kabaka

Katikkiro ng'alabula ennyanja ya Kabaka

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga  ayimirizza mu kunoonya ettofaali okutuusa ng'okulonda kw'abakulembeze omwaka guno kuwedde olwo aliddemu nga March 22-23,2016 mu ggombolola y'e Nabweru.
 
Mayiga yagambye nti " Twayimirizza okunoonya ettofaali okutuusa ng'okulonda kuwedde oluvannyuma lwa Bannabyabufuzi okwagala okuyingiza eby'obufuzi mu nsonga zino.
Waliwo abalowooza nti nnina okuyita Bannabyabufuzi e Mmengo naye nze sifukamirira bannabyabufuzi, bebalina okujja gyendi nebalaga kyebagenda okukola ku nsonga za Buganda."
 
Bino Katikkiro yabyogedde alambuza Obuganda omulimu gw'okualakulanya ennyanja ya Kabaka esangibwa e Ndeeba mu ggombolola y'e Lubaga nga bwegutambuzibwa olunaku lw'eggulo n'agamba nti ku mulembe guno okwogera obwogezi ku kitiibwa kya Buganda tekikyakola wabula
 
Minisita w'ebyobuwangwa, Obulambuzi n'amasiro, Denis Walusimbi yategezezza nti Buganda okukula erina okuddayo ku nnono zaayo nga buli kintu kikolebwa mu ngeri gyekirina okukolebwamu awatali kukoperera bintu by'abazungu.
 
Ye Ssentebe wa Buganda Twezimbe, John Fred Kiyimba Freeman yagambye nti waliwo ensonga bbiri ezitambuza omulimu akasoobo okuli okumaliriza enteekateeka n'ekitongole kya NEMA  ey'okukuumamu obutonde bw'ensi mu kifo kino wamu n'enkuba ebadde efuddemba nga tekikola okuggya kazambi mu nnyanja.
 
Meeya w'e Lubaga Joyce Nabbosa Ssebuggwawo yakubiriza Bannalubaga n'abantu ba Buganda okuvaayo okwenyigira mu mulimu guno okusobola okukuuma n'okutumbula eky'obulambuzi kino Uganda kyerina.
 
Omukolo gwetabiddwako Abaami b'amasaza okwabadde Ssebwana, Kangawo n'abakungu ba Buganda Twezimbe Ssalongo Bukenya Viva, Fred Kasozi Mamba, Maxensia Nakijoba,Ronald Kirumira ne Mubarak Ssenyonjo oluvanyuma Katikkiro nalambuza abantu empagi eziraga ettaka ly'ennyanja weriyita n'ekisenge ekikolebwa okukenenula amazzi aganayingiranga mu nnyanja.
 
Ensimbi 260,000/- zezaleteddwa ng'ettofaali okuva mu bantu abakunganye omwabadde n'abaana abaleteddwa mu bungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Minisita Muyingo n'abamu ku bakulira amasomero. Baali bava mu lukung'aana olumu gye buvuddeko.

Minisitule y'Ebyenjigiriza ...

MINISITULE y’ebyenjigiriza ezzeemu okwekenneenya n’efulumya ebiragiro ebipya ng’abayizi ba P6, S3 ne S5 nga baddayo...

Allan Bukenya ng’alaga ennyama ense.

Kola ebyokulya mu nnyama en...

OSOBOLA okukola ebyokulya eby'enjawulo mu nnyama ense eri ku mutindo n'ogaziya bizinensi y'okuliisa abantu. ...

Emmotoka etadde ebitongole bya Gavumenti mu kaseera akazibu ku ngeri gye yayingira mu ggwanga.

Ebizuuse ku mmotoka ya Bobi...

EMMOTOKA ya Kyagulanyi gye yayanjulidde abawagizi be n'abategeeza nti teyitamu masasi aleese akasattiro mu bitongole...

Akalippagano ku nkulungo y’e Naalya.

▶️ Abakozesa Northern By ...

ABANTU abakozesa oluguudo lwa Northern By Pass balojja akalippagano k'ebidduka akali ku luguudo luno okuva bwe...

Ategeka (mu ssuuti) n’Abakristu b’e Namataba nga balambula omulimu gw’okuzimba Klezia.

Klezia y'e Namataba yaakuma...

ABAKRISTU b'ekisomesa kya St. Charles Lwanga e Namataba - Kirinya mu Divizoni y'e Bweyogerere basabye abazirakisa...