TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Taata yafa Paapa lwe yajja ne maama afudde Paapa azze

Taata yafa Paapa lwe yajja ne maama afudde Paapa azze

Added 17th January 2016

Abafu tebafa

 Mugerwa anyumya ku nnyina.

Mugerwa anyumya ku nnyina.

“AMAZIMA ssinga nali mmanyi amakulu g’ebintu ebituuka ku bantu nga si bya bulijjo mu kaseera ng’abaagalwa baffe batuva ku maaso, nandibadde mmutuula ku lusegere mu kiseera we yatandikira okusinda obulumi.

Waakiri nze kennyini ne mmunywesanga ku tuzzi. Nafuna okuyongobera nzenna nga nkirako gwe bamenyeemenye ennyingo. Emmere nalyanga naye nga nayo tegenda! Mba nkyebuuza obulwadde bwe sitegeera obwangwiridde, laba akantu bwe kangwa ku liiso.

Nakanya ddagala naye nga tewali kikyuka, ssaamanya nti bino byonna byali biranga kufa kwa nnyabo anzaala, bwatyo Ronald Mugerwa ow’e Mukono bw’alombojja ekyebikiro kye yafuna mu nnaku nnyina Rose Nannyombi we yaviira mu bulamu bw’ensi eno.

Agamba: Teebereza mmange olwassa omukka gwe ogw’enkomerero, ebyali binnuma byonna gye byabulira nze naawe. December w’omwaka oguwedde nga yaakatandika, maama omugenzi Nannyombi eyabeeranga e Namawojjolo yatandika okukaaba omutwe.

Yantegeeza ku bulumi bwe yaliko ne mmubuuza oba yafunye ku ddagala. Yahhumya nti ajja kuba bulungi kuba yali amize ku bukerenda. ENFA YE Maama bwe yahhamba nti alumizibwa nagendayo okumulabako era namusanga ayera luggya n’annyaniriza bulungi.

Embeera gye yalimu n’ebigambo bye nalowooza nti ddala kituufu ajja kuba bulungi. Bwentyo ne nsalawo okudda ku mirimu gya bakama bange. Nga December 11, 2015, maama yatabuka, omutwe ne gufuuka omutwe.

Kw’olwo nali hhenze kuziika nga mukwano gwange afiiriddwa. Eno gye nafunira essimu nga bantegeeza nga maama bw’ali obubi era bamuddusizza mu ddwaaliro lya Namirembe e Mukono. Okuziika saakulinda na kuggwa ne nninnyirawo mmotoka, hhenda okutuuka mu ddwaaliro nasanga abasawo balwanagana na mulwadde kumukuba mpiso emukkakkanya obulumi bw’omutwe.

Oluvannyuma yakkakkana nga takyalwana ne bantegeeza nga bwe bakyamulinda adde engulu bamuggyeko omusaayi okusobola okuzuula obulumi we buva. Mu kiseera ky’ekimu baatusaba okumwongerayo mu ddwaaliro Ekkulu e Mulago.

Twamutuusa e Mulago wakati w’essaawa 11-12 ez’akawungeezi era nabo baatugamba kimu nti kabalinde amale okudda engulu bamukoleko. Baamuteekako ebyuma ebimuyamba okussa kuba yali takyategeera.

Omugenzi Nannyombi

 

Ku Lwomukaaga nga December 12, 2015, embeera yayongera okutabuka olwo abasawo ne baleeta akantu ke baamuteekako aveeyo ebintu mu bulago ebyali bimuleetera okussa obubi. Ebintu olwavaayo nemmange n’akutuka.

Okuva kw’olwo sitereeranga era olumu mbeera awo obwongo ne buhhamba oba si bituufu nga maama akyaliyo! Mmala kutuuka Namawojjolo ne ndyoka nkakasa nti ddala twamuziika.

Ekyewuunyisa taata yafa January wa 1993 Paapa John Paul II lwe yajja maama n’alwana okutukuza obw’omu laba naye bw’afudde mu mwaka Paapa gw’azze! Maama afudde tetumuwuliddeeko nti atabuse n’omuntu yenna. Era kino twakirabidde ku maziika ge kuba abantu baabaddeyo bangi.

Gloria Nantongo, muwala w’omugenzi: Maama yanzaala omuwala omu mu balenzi bana. Mbadde mmutwala nga muganda wange era mukwano gwange gwe nneeyabiza buli nsonga. Okuva lwe yatuvaako, mmuloota kumpi buli lunaku era n’emisana amanyi okunzijira.

Okugeza, lumu nali ntudde mu ntebe emisana nga ntunula bulungi naye n’ajja n’atuula mu ntebe eyandi mu maaso ng’eno bw’amwenya. Bannange bampita wabweru kyokka nga sibawulira.

Bwe yalaba nga mmutunuulidde n’ennaku ate n’abulawo olwo nange obwongo ne budda. Olumu mba ntambula mu lukuubo lw’enju ne mpulira omuntu ampita mu ddoboozi lye.Abaana abamu bagamba baafa ne baddamu okuzaalibwa!ENSANGI zino waliwo abaana abagamba nti baali babaddeko mu bulamu bw’ensi eno ne bafa ate ne baddamu okuzaalibwa.

Okusinziira ku lupapula lwa Bungereza olwa Daily Mail lulaga omusawo w’abaana omu Dr. Wayne Dyer akuhhaanyizza emboozi z’abaana bano ez’enjawulo nga boogera ku bulamu bwabwe obwasooka.

Muzzukulu wange bwe yali aweza emyaka nga ebiri, yatandika okwogeranga ku ye gwe yayitanga maama we omulala nga bw’ambuuza nti aliddayo ddi ewa nnyina ono. Kino kyanneewuunyisa kubanga yali abeera ne nnyina (muwala wange ) buli lunaku ate nga talina muntu mulala gwe yali abaddeko naye. Namubuuza nti nnyina ono gw’ayogerako yali abeera wa n’anziramu nti Misiri ng’asula mu nnyumba ey’ettaka.

Bwe namubuuza maamawe ono gy’ali kati n’anziramu nti tamanyi bimukwatako kubanga yasemba okumulaba ku lunaku ye (omwana) lwe yalumwa omusota ne gumutta.

Bino byampitirirako ne nnyumiza ku muwala wange azaala omwana ono kyokka naye n’antegeeza nti mutabaniwe ono yali bino naye yabimugambako dda nga bw’ayagala okuddayo eri ewa nnyina gwe yasooka okubeera naye nga tannalumwa musota ogwamutta ate n’addamu okuzaalibwa muwala wange.

Ebintu bino yabinyumyanga okutuuka lwe yatandika okusoma olwo n’abyerabira era kati aweza emyaka 12 takyalina ky’ajjukira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusumba Kaggwa ng'asala keeki n'abamu ku bataka b'ekika ky'Embogo.

Katikkiro Mayiga alabudde a...

EBYA poliisi okukuba omukka ogubalagala ku mukolo gw'abeekika kye Embogo biranze, Mmengo bw'etadde Gavumenti ku...

Abaserikale nga batwala omuvubuka gwe baakutte.

Ababazzi ku Bbiri bataayizz...

ABABAZZI b'oku Bbiri bataayizza abavubuka abagambibwa okuba mu kabinja akatigomya abantu ne babakuba.  Akabinja...

Minisita Kasolo ng'ayogera

Kampala mugigye mu by'obufu...

Minisita omubeezi ow'ebyensimbi n'ebibiina by'obwegassi Kyeyune Haruna Kasolo, yennyamidde olwabantu abafudde Kampala...

Paasita Yiga

Paasita Yiga mulwadde muyi

EMBEERA y'omusumba w'ekkanisa ya Revival Christian Church e Kawaala, Augustine Yiga yeeraliikirizza abagoberezi...

Namuli kati atunda nnyaaya e Kyengera.

Abaana be nasomesanga bansa...

Nga tukyatunuulira engeri ekitiibwa ky'abasomesa gye kityobooddwaamu, Teopista Namuli, akulira essomero lya Wonderworld...