TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni ayogedde ekyamugaanyi okukubaganya ebirowoozo ne banne

Museveni ayogedde ekyamugaanyi okukubaganya ebirowoozo ne banne

Added 18th January 2016

PULEZIDENTI Museveni agambye okukubaganya ebirowoozo okwabaddewo wakati w’abavuganya ku Bwapulezidenti, yagaanyi okukwetabamu kubanga mpaka za kwogeramu bwogezi ezitalina kye ziyamba muntu waabulijjo.

 Pulezidenti Yoweri Museveni ng’akuba kampeyini ku kyalo Kasanga mu Mpondwe Lubiriha Town Council mu ssaza ly’e Bukonzo County mu disitulikiti y’e Kasese.

Pulezidenti Yoweri Museveni ng’akuba kampeyini ku kyalo Kasanga mu Mpondwe Lubiriha Town Council mu ssaza ly’e Bukonzo County mu disitulikiti y’e Kasese.

PULEZIDENTI Museveni agambye okukubaganya ebirowoozo okwabaddewo wakati w’abavuganya ku Bwapulezidenti, yagaanyi okukwetabamu kubanga mpaka za kwogeramu bwogezi ezitalina kye ziyamba muntu waabulijjo.

“Nze nabadde n’ebyokukola bingi ebisinga okwogera obwogezi. Nze ayagala okutuusa obubaka bwange ku Bannayuganda bonna mu bibuga ne mu byalo okubategeeza bwe tugenda okulwanyisa obwavu n’ebizibu ebirala, nabadde siyinza kwonoonera budde mu mpaka za kwogera,” bwe yategeezezza eggulo.

Mu lukung'aana lw’abaamawulire lwe yatuuzizza mu maka ge e Rwakitura nga lwetabiddwaamu ne bassentebe ba disitulikiti ab’omu Ankore, Museveni yagambye nti teyatidde kuttunka na banne mu kukubaganya ebirowoozo kubanga awo nawo muyitirivu.

“Nali wa kabi nnyo mu dibeeti nga tukyali mu ssomero. Siyinza kudda mu mpaka za kika ekyo nga waliwo eby’okukola ebirala,” bwe yakkaatirizza.

Yagambye nti Bannayuganda beetaaga amasomero, amalwaliro, enguudo, obugagga, emirembe ng’ebyo by’alina okubakolera okusinga okumalira obudde mu ‘mpaka z’okwogera’.

Yasuubizza nti omulundi omulala lwe zinaategekebwa ng’alina obudde, aligenda n’abakakasa nti muka mu kwogera.

Ku ky’okuba nti olukung'aana luno lwawomwamu mutwe Amerika, yagambye nti, “Si buli kintu kya Amerika nti kya mugaso. Balina emize ffe gye tutayinza kwesembereza. Tulina okukomya okugulumiza abagwira.”

Okukubaganya ebirowoozo okwabadde ku Serena Hotel mu Kampala, kwetabiddwaamu abeesimbyewo ku Bwapulezidenti abalala bonna okuggyako Museveni owa NRM. Bano ye; Dr. Kiiza Besigye (FDC), Amama Mbabazi (Go Forward), Maj. Benon Biraaro, Dr. Abedi Bwanika, Maureen Kyalya, Joseph Mabiriizi ne Polof. Venansius Baryamureeba.

ENSONGA Y’OBUGABE

Ku Bugabe, Pulezidenti yagambye nti talina buyinza bulagira kitundu kuzzaawo abafuzi ab’ensikirano wabula abantu baamu nga bali wamu n’abakulembeze be balina okutuula beesalirewo oba babaagala.

Yagambye nti Buganda, Bunyoro, Toro n’ebitundu ebirala birina abafuzi ab’ensikirano kuba abantu baayo bakkaanya bakomewo nga ne Ankore ya ddembe okuyita mu ngeri y’emu okufuna Obugabe.

ASUUBIZZA DISITULIKITI

Bwe yabadde ku ssomero lya Nkaiga Primary e Maliba mu Busongora North mu disitulikiti y’e Kasese ku Lwomukaaga, Museveni yasuubizza abaayo disitulikiti empya ng’ekutulwa ku Kasese.

Yabasuubizza amazzi, enguudo, amasomero n’amalwaliro n’abakubiriza okutandikawo pulojekiti ezibaggya mu bwavu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi yeezoobye n'aba ake...

Bino bibaddewo olwaleero(Lwakusatu ku makya) abasuubuzi abakulembeddwa,ssentebe w'ekibiina kino Godfrey Katongole...

Bannalotale mukwatizeeko Ka...

OMUBAKA wa gavumenti e Kalungu Pastor Caleb Tukaikiriza akubirizza Bannalotale beeyambise omutima gw'ekibiina kyabwe...

Embeera y'amasiro nga bwegali mu kiseera kino

Omuwanika wa Buganda Waggwa...

OMUMYUKA ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda,Robert Waggwa Nsibirwa bwe yabadde asoma embalirira...

Abakozi abakolera mu Owino balaajanidde Gavumenti ku mmaali yaabwe

Abakolera mu Owino balaajan...

ABASUUBUZI abakolera mu katale ka St.Balikudembe balaze obutali bumativu olw'abeebyokwerinda okubagaana okutaasa...

Eyafumitiddwa ebiso nga bw'afaanana

Kamyufu afumise munne ebiso...

OLWAMAZE okufumita munne ebiso n’agenda nga yewaana nti, ‘mumaze naye agende yejjanjabe nga nange bwe ngenda okwejjanjaba’....