TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Museveni tagenda kwetaba mu kukubaganya ebiriwoozo okwomulundi ogwokubiri

Museveni tagenda kwetaba mu kukubaganya ebiriwoozo okwomulundi ogwokubiri

Added 18th January 2016

PULEZIDENT Yoweri Kaguta Museveni nga y’akutte tiketi y’ekibiina ku kuvuganya ku Bwapulezident tagenda kwetaba mu kukubaganya ebiriwoozo okwomulundi ogwokubiri okugenda okubeerawo nga 10 February 2016.

 Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Museveni

PULEZIDENT Yoweri Kaguta Museveni nga y’akutte tiketi y’ekibiina ku kuvuganya ku Bwapulezident tagenda kwetaba mu kukubaganya ebiriwoozo okwomulundi ogwokubiri okugenda okubeerawo nga 10 February 2016.

 

Kinajjukirwa mu okukubaganya ebirowooza okwabaddewo ku Lwokutaano  lwa wiiki ewedde okwategekeddwa aba Inter Religious Council Uganda, Pulezidenti Museveni teyasobodde kukwetabamu ng’agamba yabadde anoonya mu kunoonya kalulu mu Buvanjuba bw’eggwanga.

 

Omwogezi wa ttiimu enoonyeza Pulezident Museveni obululu, Mike Ssebalu asinzidde mu lukung’aana lwa bannamawulire lw’atuuzizza ku kitebe kya NRM e Kyadondo n’agamba nti Pulezident tagenda kulekawo bantu b’e Wakiso nga 10 omwezi ogujja okwetaba mu kukubaganya ebirowoozo ate nga disitilikiti y’e Wakiso nnene nnyo n’olwekyo tayinza kukkiriza kufiirwa budde bwonna.

 

“Kandideeti waffe tagenda kukyusa mu nteekateeka eyakolebwa akakiiko akamunoonyeza obululu okuggyamu olunaku n’olumu era ku lunaku olwo ajja kubeera mu Wakiso kubanga erimu konsituwensi eziwera munaana ate nga mu buli konsituwensi alina okugyogereramu, era ng’ajja kunoonya akalulu okutuukira ddala nga 16 omwezi ogwokubiri,” Mike Ssebalu bwe yakkaatirizza.

 

Ssebalu yayongeddeko abavuganya ne Pulezident Museveni bbo baakugenda mu maaso nga beetaba mu kukubaganya ebirowoozo kuno bwe baba balaba nti lye limu ku kkubo mwe basobola okuyita okunoonya akalulu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fred Bamwine ng’akwasa Ndisaba ekitabo ky’ensonga z'e Mukono.

Ndisaba akwasiddwa ofiisi

Bya JOANITA NAKATTE                                                                                           ...

David Kabanda (ku ddyo) omubaka wa Kasambya, Haji Bashir Ssempa Lubega owa Munisipaali y’e Mubende ne Micheal Muhereza Ntambi, ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga bawayaamu.

Abaalondeddwa ku bubaka mu ...

ABAAWANGUDDE ebifo by’ababaka ba palamenti ku kaadi ya NRM mu konsitityuwensi ez’enjawulo mu Disitulikiti y’e Mubende...

Matia Lwanga Bwanika owa Wakiso.

Ssentebe afunira mu nsako

Eyali Sipiika wa Jinja munisipaali oluvannyuma eyafuulibwa City, Moses Bizitu yategeezezza nti bassentebe ba disitulikiti...

Bakkansala ba Kampala nga bateesa mu City Hall gye buvuddeko.

Omusaala ogulindiridde aba ...

Bya MARGARET ZALWANGO OKULONDA kwa bassentebe ba Disitulikiti, bammeeya b'ebibuga (cities) ne bakkansala b'oku...

Omulabirizi Luwalira ng'asimba omuti.

Ekkanisa ne bwekwata omulir...

Omulabirizi w'e Namirembe, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira agumizza Abakristaayo nti wadde sitaani asiikudde...