TOP

Pulezidenti Museveni agumizza ab'ebibanja

Added 31st January 2016

Bino abikoledde mu lukiiko lwa bannamawulire lwe yatuuzizza mu maka g’Obwapulezidenti e Kisozi mu disitulikiti y’e Gomba ku Ssande.

 Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Museveni

PULEZIDENTI Yoweri Museveni alagidde wabeerewo ennongoosereza mu tteeka ly’Ettaka, oweekibanja abeere ng’asobola okutwala busuulu ku Ggombolola singa nnannyini ttaka aba agaanyi okubukwata.

Bino abikoledde mu lukiiko lwa bannamawulire lwe yatuuzizza mu maka g’Obwapulezidenti e Kisozi mu disitulikiti y’e Gomba ku Ssande.

Yagambye nti ebizibu by’ettaka byatandikira ku mulembe gw’Abazungu abaasalawo okuwa Abataka 1,000 aba Buganda ettaka nga babasiima olw’okukolagana nabo obulungi okufuga Uganda.

Yagambye nti Abataka bano baatandika okuyigganya abantu nga babasoloozaako ebitundu kimu kyakusatu eky’ebirime bye baakungulanga mu ttaka lyabwe n’agamba nti Abazungu baagezaako okutereeza ekizibu kino bwe bassaawo Busuulu & Envujjo Law erya 1928.

Etteeka lino lyagaana bannannyini ttaka okuddamu okusengula abasenze era ne lissaawo n’ekkomo ku busuulu obulina okusasulwa abasenze nga tebulina kusussa 8/-.

Yagambye nti Idi Amin bwe yalya Obwapulezidenti, yassaawo etteeka (Land Decree) erya 1975 n’aggyawo obwannannyini ku ttaka.

Kyokka Gavumenti ya NRM bwe yajja mu buyinza yayagala esseewo okukkaanya n’okulaba nga nnannyini ttaka n’oweekibanja tekuli anyigiriza munne.

Yazzaawo obwannannyini bwa mayiro ku ttaka, kuno kwe baateeka n’okukola etteeka ly’Ettaka nga ligaana nnannyini ttaka okugobaganya oweekibanja.

Yagasseeko nti abeebibanja baalagirwa okusasulayo busuulu mutono eri nnannyini ttaka ng’akasiimo nti kyokka mu kiseera kino akizudde nga bannannyini ttaka beebuzaabuza ne bagaana busuulu ne bakolagana n’ekitongole ekiramuzi ekiragira busuulu bamutwale mu kkooti. Wano w’agambidde nti kino tasobola kukikkiriza n’alagira wateekebwewo ennongoosereza mu tteeka ly’Ettaka, busuulu abeere ng’asasulwa ku Ggombolola.

Ku buli bw’enguzi mu Gavumenti, yasabye buli mukulembeze okutuukiriza olubimbi lwe ng’alondoola engeri ssente za Gavumenti gye zikozesebwamu. Yagambye nti wadde nga ye asobola okulwanyisa obuli bw’enguzi, kyokka tayinza kukikola ku magombolola na disitulikiti nga tayambiddwaako.

Yavumiridde enkola ya bannabyabufuzi b’oludda oluvuganya ey’okucamuukiriza abantu nga y’ensonga lwaki Dr. Besigye aleka okulambula amalwaliro agakoleddwa obulungi n’agenda ku gatannakolebwa.

Olukuhhaana lwetabiddwaamu Sipiika Kadaga, omumyuka asooka owa Katikkiro, Henry Kajura, nnampala wa Gavumenti, Ruth Nankabirwa, baminisita Nyombi Thembo, Vincent Nyanzi ne Matia Kasaija.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...